Amawulire

Pressure owa Tiktok bamusindise Luzira ku by’okuvvoola Gen Muhoozi

Omuvubuka Ibrahim Musana amanyiddwa nga Pressure 24/7 ku mutimbagano gwa Tiktok asimbiddwa mu kkooti ku by’okuvvoola n’okukozesa olulimi olusiga obukyayi ku aduumira amagye g’eggwanga Gen Muhoozi Kainerugaba.

Pressure owa Tiktok bamusindise Luzira ku by’okuvvoola Gen Muhoozi
By: Margaret Zalwango, Journalists @New Vision

Omuvubuka Ibrahim Musana amanyiddwa nga Pressure 24/7 ku mutimbagano gwa Tiktok asimbiddwa mu kkooti ku by’okuvvoola n’okukozesa olulimi olusiga obukyayi ku aduumira amagye g’eggwanga Gen Muhoozi Kainerugaba.

Musana 28, omutuuze ku Asante Apartments e Kyanja mu munisipaali y’e Nakawa asimbiddwa mu kkooti ya City Hall n’asomerwa emisango ebiri okuli okukozesa oba okufuna mu bukyamu ebikwata ku muntu ssaako okukozesa olulimi olusiga obukyayi.

Pressure 24/7 lwe yasibwa ku by'okuvvoola Kabaka

Pressure 24/7 lwe yasibwa ku by'okuvvoola Kabaka

Oludda oluwaabi lugamba nti mu March 2026 ng’akozesa ekibanja kye ku tiktok ekya Pressure 24/7 mu bukyamu yafuna ekifaananyi n’amannya ga Gen Muhoozi nga tafunye lukusa okuva gyali.

Ono era kigambibwa nti yasaasanya obubaka obukwata ku Muhoozi ng’agamba  taasaniidde kubeera muduumizi w’amagye ga UPDF obubaka obugambibwa nti buvvoola Muhoozi ssaako okumuyisaamu amaaso n’ekitiibwa okukissa wansi.

Abadde mu maaso g’omulamuzi Edgar Karakire era emisango n’agyegaana. Kkooti emusindise mu kkomera okutuusa nga March 26, 2026 oludda oluwaabi lumalirize okunoonyereza.

Tags:
Amawulire
Musana
Pressure 24/7
Kulabirira
Kuvvoola