POLOF. Badru Kateregga eyaakava ku kiso okulongoosebwa oluvannyuma lw’okufuna obuzibu awaka, agenze e Busoga gy’asanze Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga,n’amukaabira ebizibu by’alina awaka era n’amwanjulira n’abaana be abagenda okuddukanya Yunivasite ye n’ebyobugagga ebirala.
Yalombojjedde Katikkiro ebizibu by’ayitamu ensangi zino naddala awaka kyokka n’agamba nti tajja kubigenda wala olw’ekifo kye yabaddemu.
Bino byabadde ku Yunivasite ye eyitibwa Kampala University ku ttabi ery’e Jinja, Bannankobazambogo abasomera mu kitundu ky’obuvanjuba bwa Uganda kwe baakyaliza abaavudde mu bitundu ebirala ku Lwomukaaga nga October 5, 2024.
Munnabyanjigiriza ono nga yunivasite ye erina amatabi agawera okuli ekkulu e Ggaba,
Mutundwe, Masaka, Jinja, Rwanda ne Nairobi yabadde tasuubirwa ku mukolo guno olw’embeera y’ebyobulamu bwe eyatuukawo mu makaage.
Abatwala ettabi ly’e Jinja baamwekangidde awo. Yatuuse n’abasawo babiri nga bamukwatiridde, abaserikale abamukuuma wamu n’abayambi be. We yatuukidde nga Mayiga ali mu nsisinkano n’abakulira ettendekero lino.
Yabadde ayambadde entalabuusi era Wano yagiggyeeko n’alaga Mayiga ebiwundu bibiri
ebyamusalwa ku mutwe nga byateekebwako pulasita mu ngeri y’okutaasa obulamu bwe era olwamaze kino abayambi be ne baddamu okugimwambaza.
“Bannange twebaza Katonda olw’obulamu bwange n’obwammwe kubanga okuva
nga September 9, 2024 okutuusa kati, ndi mu ddwaaliro. Naye olw’obukulu bw’omukolo guno ogwa Nkobazambogo n’okukyaza mukwano gwange ate mukama wange, Katikkiro wa Buganda, nnasabye busabi abasawo ne banzikiriza, nzije mmubuuzeeko katono nzireyo. Ate naye mmwebaza obutangoba bugobi n’anzikiriza
ntuuleko naye mu ngeri gyembaddemu,” Polof. Kateregga bwe yayogedde.
“…bampadde emyezi esatu nga soogera ku masimu, sikyaza bagenyi. Munsonyiwe bannange be baagobedde ebweru naye eryo tteeka ly’abasawo. Ate kibayamba
nze bwenjira nga nzizaawo obwongo bwange, ebintu bingi;
bambaaga ku bwongo wano olw’ebizibu ebyaliwo awo bye sijja kunnyonnyola naye nange saategeera byaddirira era bwe njogera ennyo bayinza okutya nti ate bye mmanyi biyinza okuggwa mu bwongo,” Polof. Kateregga bwe yagasseeko.
Polof. Kateregga yategeezezza ng’omukwano gw’alina ne Nkobazambogo bwe gwamutanudde okuva ku kitanda era n’ayagala kukozesa omukolo guno gwe
yayise omukulu mu byafaayo bya yunivasite eno, okwanjulira Katikkiro Mayiga mu butongole, er ffamire ye.
“Olwaleero lunaku lukulu nnyo kubanga mpise n’abamu ku baana bange. Bangi emubalabangako.
Abo bemulaba awo, be bamu ku baana bange. Abamu mubadde mulowooza nti ndi musajja mutoototo olw’okuba ndi mukwano gw’abato. Naye bano be baana bange abazze okunnyambako mu bulwadde buno obwantuuseeko;
Yayongeddeko nti, “Ate nga waliyo n’abalala abasukka mu 15 nga nabo bajja eeh omulanga gwa Nadduli twaguwuliriza. Omusajja tabalirwa nzaalo, naye beebo abaana. Naye enjawulo eriwo nti bye tubadde tukola mu Kampala yunivisate babadde babimanyi, bbo beeberera Sweden, London, Canada n’ebitundu ebirala.” Polof. Kateregga mukiise mu lukiiko lwa Buganda olukulu, y’omu ku bayima b’ebintu by’ekika ky’Empologoma ate ng y’atwala ekitongole ky’ettaka mu kika kino ssaako obuvunaanyizibwa obulala mu ggwanga.
Yawadde obujulizi nti abadde talwalangako era abaana be abazze kyabakanze nnyo okuwulira nti kitaabwe mulwadde era ali mu ddwaaliro ajjanjabibwa,bwe batyo ne badduka emisinde si kulwa ng’abavaako nga tebaliiwo!
okuva olwaleero olw’omukululo (legacy) gwa Kampala yunivasite bano nabo balina okuyingira mu mirimu gye tukola ,”Polof. Kateregga bwe yabuulidde abantu abangi abaabadde bamutegedde amatu.
Yagenze mu maaso nti “Mu butongole mbaleese mbalage ne Katikkiro, tewabeeranga abanyenyanyeenya nga balina ebyabwe bye beetaaga. Ssebo abo be baana, beeteefuteefu okukola ne Kampala yunivasite, tewali gwe bagenda kugoba mu kifo kye kubanga nabo
balina ebyabwe,” .
Yabuulidde Katikkiro n’abakul abalala nti bangi babaddenga bamubuuza nti bw’anavaawo, ebintu entoko by’atuuyanidde, binaasigala bitya?
“….ne mbagamba nti weebali (abaana abanaabitambuza). Naye nabo ne bakkiriza nti kabatandike okwenyigiramu okulaba nti omukululo gwaffe gugenda mu maaso. Tebabeera kuno naye omukululo gwaffe gubaleese, buli kibi kibeerako n’ekirungi n’olwekyo katutandikire awo. Twasabye dda aba Kampala yunivasite, bakkirize bannaabwe abo okubeerako kye batuyambako kubanga buli ky’oyogerako bakirina, bw’oyogera ku babalirizi b’ebitabo, bayinginiya n’ebirala.”
Yagambye nti abadde n’okusoomoozebwa nti mu Uganda bangi babadde tebamanyi famire ye nga bawulira abalongo bokka kyokka ng’alina famire y’abantu 25. “Noolwekyo tubaaniriza ate nammwe mubaanirize. Mu Kampala Yunivasite tulina eng’ombo egamba nti ‘tuli baakubeera wano beerera’ nabo baakubeerawo.
Ababadde n’okubuusabuusa nti baddayo mangu, mbakakasa nti weebali nnyo naye tebaliwo kutwala mirimu gyammwe wabula bagenda kubeera nga bawabula
buwabuzi.” Mu kwogera kwe, Katikkiro Mayiga yeebazizza Polof. Kateregga olw’okutumbula eby’enjigiriza n’okwolesanga omwoyo gwa Buganda ogutafa mu nsonga z’Obwakabaka. Polof. Kateregga ono mwagazi nnyo wa Bwakabaka ate mukwanogwange. Bwembeerako ebyange ng’omuntu y’omu ku bantu ababeera
ange. Neebazza Katonda olw’obulamu bwe, ffenna byatutiisa,” Mayiga bwe yagambye. Katikkiro yamwebazizza olw’okumwanjulira abaana be era n’abeebaza olw’okutindigga eggendo ne bajja okujjanjaba kitaabwe.