Poliisi y’ e Lugazi eggalidde omusamize, Kabona w’enzikiriza y’obuwangwa n’ennono Ssaalongo Mukasa Mutyaba n’omulala Steven Emulot ku bigambibwa nti baakubye ne batta omutuuze Charles Ssekitto 50, nga bamulumiriza okubba emmwaanyi.
Omugenzi Bw'abadde Afaanana.
Omugenzi yafudde oluvannyuma lw’okukubwa obubi ennyo emiggo ne bamumenya okugulu, okumukutula ennyingo n’okumuwalula ku ttaka n’afuna ebisago eby’amaanyi ebyamuviiriddeko okufa.
Abaffamire abaakulembeddwa Edith Mbabazi bano bannyonnyodde nti bino byabaddewo akawungeezi ka mmande, omu ku baana ku kyalo bwe yabategeezezza nga Ssekitto bw’akubiddwa obubi ennyo era ng’asigaddeko kikuba mukono ne badduka okumunoonya kyokka n’ababula.
Erimu Ku Masabo Agali Ewa Mutyaba,
Ayongeddeko nti oluvanyuma ku ssawa nga ssatu ez’ekiro, waliwo emotoka eyamubaleetedde n’emusuula mu luggya, olwo eyagibaddemu eyategeerekese nga Malagala (kati aliira ku nsiko) n’abategeeza nga mukama waabwe Mutyaba bw’abatumye okumuzza ewaka era nti akubiddwa lwa kubba mwaanyi ze.
Agamba nti omugenzi yabategeeza nga bwe yabadde agenze okukyaba enku n’okutema omuddo gw’ebisolo wabula nga we yabadde ali, wabadde waliraanye ettaka lya Mutyaba era nti mu malagala gye yamuggye ng’amuwalabanya, n’amutwala ewa Mutyaba nga bw’amulumiriza okubba emmwaanyi.
Mutyaba Eyakwatiddwa.
“Yatugambye nti baamwambudde engoye zonna n’asigala mu k’omunda ne bamukuba bubi nnyo, era nti oluvannyuma Mutyaba alina ebintu bye yamunywesezza n’okumuyiira omubiri gwonna ne bamuyingiza essabo nga wano teyazzeemu kutegeera.”Mbabazi bw’agamba.
Ffamire ekalambidde nga bw’etagenda kuziika muntu waabwe nga tebannafuna bwenkanya yadde obuyambi okuva eri agambibwa okumutta newankubadde nga Mutyaba yeetutte ku poliisi.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Ssezibwa Hellen Butoto akakasizza okukwatibwa kw’ababiri bano n’annyonnyola nga bwe bagguddwaako omusango gw’obutemu era nga poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza.