ABANTU 96 be bakwatiddwa mu bikwekweto ebyakoleddwa e Namugongo ku misango e 120 egyaloopebwa Abalamazi.
Ku misango gino, abantu basatu bakwatiddwa ku bigambibwa nti omu yasangiddwa n'amasasi ate abalala babiri ne bakwatibwa ku bigambibwa nti baabadde bambadde ebyambalo ebyefaananyiriza eby'ekijaasi.
Emisango ebiri n'abantu babiri, baakwatiddwa nga batambuza ebicupuli so ng'ate waliwo eyakwatiddwa ng'agezaako okusobya ku mulamazi omukazi eyabadde anaaba.
Ku misango gino, abalamazi 81 babbiddwako essimu zaabwe era ku zino essimu 16 zaazuuliddwa era abantu 16 ne bakwatibwa.
Ensawo ezabbiddwa zaabadde 24 kyokka ku zo 15 zaazuuliddwa era nga tewali yakwatiddwa ku bubbi buno.
Abaabadde bajinga satifikeeti z'abalamazi nga bava e Lugazi , baabadde abantu babiri ate omusango gumu ku muntu eyabbiddwako ssente, gwe gwaloopeddwa.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, ategeezezza nti abamu ku bakwate, bagenda kutwalibwa mu kkooti , bawerennembe n'emisango.
Abaana mukaaga , balondeddwa era bakuumirwa ku CPS mu Kampala nga ku bo kuliko babiri abatoogera.