SGr. Dr. Richard Kayondo owa Lugazi alangidde Abakristu abapapa okufuna ababeezi
nga basinziira ku bintu ebitaliimu ng’obugagga n’amazina ky’agamba nti kye kivuddeko
obufumbo okusasika.
Bino yabyogeredde mu bazadde, abayizi n’abasomesa b’essomero lya Our Lady of
A erica Mukono mu mmisa y’okwebaza Omukama ebirungi by’akoledde essomero.
Msgr. Kayondo agamba nti okufuna omuntu gw’oyagala mu mutima kye kisinga nti
naye abamu naddala abakyala baganza abaami nga basinziira ku kuzina mazina malungi
n’abalala byabugagga n’agamba nti omukwano ogw’ekikula ekyo teguwangaala.
Mu mmisa y’emu, yasabidde abayizi ba S4 ne S6 ate n’okuwa abaana abawerako essakalamentu lya Kofirimansiyo.
Omukolo gwetabidwaako Ssekiboobo wa Kyaggwe, Vincent Matovu era mutandisi w’amasomero gano. Omukulu w’essomero, Paul Kasumba yategeezezza nti okugunjula abaana mu ddiini n’empisa kye basookerako