Poliisi y’e Budaka agumbuludde ababadde beekalakaasa ku bya minisita Musenero

May 20, 2022

POLIISI  y’e Budaka egumbuludde ekibinja ky’abavubuka ababadde beekalakaasa nga bawakanya eky’ababaka ba palamenti okunoonyereza ku minisita w’ebyassaayansi n’obuyiiya Dr. Monica Musenero.

Abavubuka nga beegugunga.

Ivan Wakibi
Journalist @Bukedde

Bya Ivan Wakibi

POLIISI  y’e Budaka egumbuludde ekibinja ky’abavubuka ababadde beekalakaasa nga bawakanya eky’ababaka ba palamenti okunoonyereza ku minisita w’ebyassaayansi n’obuyiiya Dr. Monica Musenero.

Kigambibwa nti Mesenero yabulankanya ssente za covid eziwera akawumbi kalamba n’obukadde 400.

Abavubuka bano abakulembeddwa Jackson Maganda babadde bakutte ebipande okuli obubaka obwemulugunya ku nsonga eno, wabula poliisi ekulembeddwaamu DPC David Nkurusiza ne bakubamu omukka ogubalagala ne babuna emiwabo.

Okusinziira ku Maganda, Minisita Musenero talina musango nti wabula waliwo ababaka abamuyiganya, okutaataganya emirimu gy’akola n’okumusiiga enziro.

Ono asabye pulezidenti Museveni obutawuliriza nziro esiigibwa minisita Musenero n’ababaka nga baagala okumusuuza ekifo kino.

DPC Nkurusiza agambye nga bwe bagumbuludde abavubuka bano kubanga babadde bagootaanya emirimu gy’abasuubuzi mu kibuga Budaka wamu n’ebyantambula ky’atasobola kugumiikiriza

Ono abasabye okukozesa amakubo amatuufu okutuusa okwemulugunya kwabwe eri bekikwatako

Ekitundu ky’e Budaka,minisita Musenero gy’azaalibwa.

 

 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});