Ab’e Mbale n’e Kamonkoli bakaaba kasasiro

Jan 04, 2024

OMWAKA 2024 ab’ebibuga okuli Mbale City ne Town Council ya Kamonkoli mu disitulikiti y’eBudaka bakaaba olw’entuumu za kasasiro asusse nga kumpi ku buliluguudo ntuumu ze zikwaniriza.

Kasasiro ayiibwa wakati mu lugudo ‘Pallisa’ mu kibuga Mbale.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

OMWAKA 2024 ab’ebibuga okuli Mbale City ne Town Council ya Kamonkoli mu disitulikiti y’eBudaka bakaaba olw’entuumu za kasasiro asusse nga kumpi ku buli
luguudo ntuumu ze zikwaniriza.
Mu Mbale buli luguudo okuli Kumi Road, North Road, Naboa Road, Bishop Wasikye Road, Cathedral Avenue, Market Street ne Pallisa Road wonna kasasiro amansibwa bumansibwa.
Abatuuze bagamba nti kkanso ebasoloozaako ssente za kasasiro naye tayoolebwawo n’awunya.
E Kamonkoli bagamba yo ebizibu bisinga ku by’abalala nga naye ekizibu kiva ku butaba ne we bayiwa kasasiro bwe batyo abantu ne basalawo kumuyiwa
mu kibuga. Abatuuze n’abasuubuzi naddala abalina amaduuka mubitundu bino bagamba nti okuwunya kwa kasasiro kuviiriddeko abaguzi okubeebalama. Mu
bano mulimu abafumba emmere, abakamula obutunda n’abakola emirimu
egy’enjawulo. Bano bagamba nti buli nkuba lw’etonnya kasasiro avaamu ekivundu ekibagobedde abaguzi.
Sipiika wa Industrial Division mu Mbale City, Musa Kasajja yagambye nti ekizibu ye akissa ku batuuze obutaba na buvunaanyizibwa ekibatuusa okuyiwa kasasiro buli we basanga omuli n’ebimuli by’ekibuga ne mu mifulejje gya mukoka ekigiviirako
okuzibikira. Ekirala yakitadde ku bugayaavu bwa kkanso okulagajjalira obuvunaanyizibwa bwayo ku kuyoola kasasiro n’okuyonja kibuga kubanga baba ne bajeti.
Ekirala kkanso gy’eyiwa kasasiro e Doko wajjula nga tebannafuna kifo kirala we bayinza kumuyiwa. Kino kitegeeza nti ne bwe bamuyoola aw’okumuyiwa
wabula. Mmeeya wa town kkansoye Kamonkoli, Christopher
Ketawu yagambye nti baakisalawo nga kkanso kasasiro bagire nga bamuyiwa we yali ayiibwa nga bwe banoonya ekifo ky’enkalakkalira gy’agenda okuyiibwa. Agamba nti banoonyezza ekifo era baakifuna we bagenda okumuyiwa. Yagasseeko nti mu mbalirira y’omwaka ogujja 2024-2025 bamaze okuyisa ssente z’okugula ekifo ekyo.
Yategeezezza nti ensobi eyakolebwa emabegako, kkanso yayisa ssente ez’okugula
ekifo kya kasasiro ne ziwunzika nga ate bazikozeemu birala.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});