Sheikh Ssemmambo: Engeri gy’alondeddwa ku bwa Mufti

Dec 18, 2023

ABADDE omumyuka asooka owa Mufti wa Uganda, Sheikh Abdallah Ibrahim Ssemmambo Tamusuza 57, alayiziddwa ku bwa Mufti wa Uganda.

Sheikh Ssemmambo (owookubiri ku kkono) ng’atuuka e Gangu okulayira.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

ABADDE omumyuka asooka owa Mufti wa Uganda, Sheikh Abdallah Ibrahim Ssemmambo Tamusuza 57, alayiziddwa ku bwa Mufti wa Uganda.
Yalayiddwa kamisona wa gavumenti avunaanyizibwa ku kukuba ebirayiro, Sseggwanyi Ssakka okuva mu Sseggwanyi Ssakka & Co. Advocates.
Okulayiza Sheikh Ssemmambo kwaddiridde ttabamiruka w’Obusiraamu okuzzaako ebbali Mufti Shaban Ramadhan Mubajje okumala emyezi mukaaga nga bw’abuulirizibwako. Ssemmambo agenda kukola mu kifo kya Mufti wa Uganda okumala emyezi 6.
Omukolo gw’okumulayiza gwakoleddwa ku ssomero lya Gangu Muslim Primary School.
Kino kyaddiridde olutuula lwa ‘General Assembly’ olwamaze ennaku bbiri nga bateesa ku ky’okugoba Mubajje ku bwa Mufti. Sheikh Ssemmambo yalondeddwa ku Lwamukaaga olwo eggulo ku Ssande ku ssaawa nga 8:00 ez’emisana n’alayizibwa.
SSEMMAMBO AKKIRIZZA OBUVUNAANYIZIBWA
“Ku lunaku luno olukulu ennyo mu bulamu bwange mbeebaza olw’obwesige bwe muntaddemu era mbalagaanyisa nja kubukuuma butiribiri, okutuukiriza ebigendererwa ebitutwala mu maaso nga tugoberera Quran ne ssemateeka w’Obusiraamu, ofiisi yange ejja kubeera hhonvu gye muli era nga tukolaganira wamu ne bammemba ba General Assembly n’abafuga eggwanga lino tujja kuleeta enjawulo nnene mu bukulembeze bw’Obusiraamu,” Ssemmambo bwe yategeezezza.
Oluvannyuma eyabadde ssentebe w’olukiiko Hajji Badru Sabira yasabye bammemba okuleeta amannya ku kifo ky’obwassentebe bwa Uganda Musilm Supreme Council era baalonze Isa Gule ow’e Budaka n’alayizibwa Mufti Ssemmambo ng’adda mu kifo kya Muhammad Lubega.
Bano nga tebannalayizibwa, Sabira yasoose kulangirira lukiiko olwa bammemba 11 abagenda okunoonyereza ku Mufti Mubajje olukulirwa Hussein Lukyamuzi.
EBYABADDEWO NGA BALONDA SSEMMAMBO
Abasiraamu baayise olukiiko olw’enjawulo (Special General Assembly) ku ssomero lya Gangu Muslim Primary School ku lw’e Busaabala ku Lwamukaaga ng’ono yakubiriziddwa eyaliko omumyuka wa ssentebe wa disitulikiti y’e Kapchorwa, Hajji Badru Arupaswalle Sabira ng’ayambibwako munnamateeka Hamuzah Wandera eyabadde omuwandisi w’olukiiko.
Ebigendererwa by’olukiikoluno Sabira yagambye nti kwabadde kuteesa ku mmaali y’Obusiraamu egambibwa nti yatundibwa Mubajje okuli ettaka ly’e Ssembabule n’ebirala, okugoba eyali ssentebe w’ebyokulonda mu Uganda Muslim Supreme Council (UMSC), eky’okukyusa ssemateeka w’Obusiraamu, ennonda ya ssentebe wa UMSC n’ebirala.
Wakati mu lukiiko, Hajji Mudathir Dooka omu ku bammemba ba ‘General Assembly’ yaleese ekiteeso eky’okugoba Mubajje ne kisembebwa Yasin Kakuru okuva e Kiruhura.
Bano baasazeewo nti Mubajje addeko ebbali okumala emyezi mukaaga abuulirizibweko.
Okutuuza olukiiko luno kyaddiridde omulamuzi Faridah Shamilah Bukirwa Ntambi owa kkooti enkulu okuwa ekiragiro ekibakkiriza okutuuza olutula olw’enjawulo okutunula mu nsonga za UMSC oluvannyuma lw’Abasiraamu basatu okuli Yudaya Babirye, Burhan Namanya ne Hussein Simbwa okwekubira enduulu mu kkooti nga bawakanya ekya Mubajje okudibaga ensonga z’Obusiraamu.
Bano omulamuzi yabalagidde okwanjulira kkooti lipooti ku binaababituukiddwaako era n’abawa olukusa okulonda omuntu anaayita olutuula luno era bammemba beerondemu omuntu anaalukubirizza mu kifo ekigatta bammemba bonna.
ABALI KU KAKIIKO
Akakiko kaliko; Hajji Mudathir Dooka owa West Nile, Hajji Musa Muyinda ow’e Makindye, Zulaikah Kamara avunaanyizibwa ku nsonga z’abakyala, Hajji Isa Gule okuva mu Eastern Region (ono yalondeddwa okubeera ssentebe wa UMSC), Yasin Kakuru Ankore -Kigezi, Mustafah Ayera Northern Uganda, Muzamil Nsimbi -Busoga, Ramathana Namara Bunyoro -Fortportal, Hussein Lukyamuzi ne Banatusanga ne Faizal agenda okukiikirira abavubuka.
SHEIKH SSEMMAMBO YANI?
l Sheikh Abdallah Ssemmambo Tamusuza eyalondeddwa ku bwa Mufti ow’ekiseera, ava mu maka amagundiivu mu Busiraamu, aga Sheikh Ibrahim Tamusuza e Simba – Kibibi mu Butambala.
l Nnyina ye Hajjati Joweria Tamusuza muwala wa Sheikh Swaibu Ssemakula eyaliko Mufti wa Uganda.
l Ssemmambo yasomera Simba mu Butambala, gye yava n’agenda ku Bilaal Islamic Institute e Kakiri.
l Bazadde be baamwongerayo e Saudi Arabia mu Islamic University of Madinah gye yafunira diguli mu Sharia, era n’abeerako n’abamanyi abakuukuutivu mu Busiraamu ng’ali e Saudi.
l Ssemmambo, amaze ebbanga mu kukulembera n’okusomesa Abasiraamu, era nga yaliko e Kibuli gye yava n’agenda e Kampalamukadde n’aweerezaako mu ofiisi ez’enjawulo okutuusa bwe yafuulibwa omumyuka wa Mufti mu 2016.
l Ssemmambo muganda wa Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});