Gavumenti eraze by’etaddewo okulwanyisa kalusu mu nte

Feb 05, 2024

GAVUMENTI eraze kaweefube gw’etaddewo okulwanyisa obulwadde bwa kalusu obusensedde disitulikiti za Uganda 36 ezaateekebwako kalantiini okukomya okutambuza ebisolo.

Gavumenti eraze by’etaddewo okulwanyisa kalusu mu nte

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

GAVUMENTI eraze kaweefube gw’etaddewo okulwanyisa obulwadde bwa kalusu obusensedde disitulikiti za Uganda 36 ezaateekebwako kalantiini okukomya okutambuza ebisolo.

Minisita w’ebyobulimi n’obulunzi, Frank Tumwebaze mu kiwandiiko kye yatutte mu Palamenti wiiki ewedde yalaze nti obulwadde buno buzinzeeko disitulikiti 36 era zonna baazissaako kalantiini nga tewali kisolo kiggyibwayo okuli; embuzi, ente n’embizzi.

Disitulikiti eziriko kalantiini kuliko; Budaka, Bukedea, Bukomansimbi, Bunyangabu, Butaleja, Fortportal City, Gomba, Ibanda, Isingiro, Kabarole, Kasanda, Kayunga, Kazo, Kiboga, Kibuku, Kiruhura, Kumi, Kyankwanzi, Kyegegwa, Kyotera, Luuka, Lwengo, Lyantonde, Mbarara, Mbarara City, Mityana, Mpigi, Mubende, Nakaseke, Nakasongola, Namisindwa, Ngora, Ntungamo, Rakai, Rwampara ne Sembabule.

Gavumenti egenda kugema ebisolo ng’etandikira mu disitulikiti ezo. Buli mwaka Gavumenti ebadde egula ddoozi z’eddagala erigema eziwera emitwalo 50. Okugema eggwanga lyonna kyetaagisa ddoozi obukadde 88 okugema emirundi ebiri mu mwaka nga kimalawo obukadde bwa doola za America 176 ezitaliiwo.

Mu kiseera kino minisitule y’ebyobulimi yakutte ezimu ku ssente ezibadde ez’okukola emirimu emirala n’etumya ddoozi obukadde bubiri n’emitwalo 30 era zisuubirwa okutuuka mu ggwanga mu myezi mitono mu maaso.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});