Avudde mu NUP n'alangirira okwesimbawo ku bwa Pulezidenti

BENJAMIN Kalyesubula ayabulidde ekibiina kya NUP n’alangirira okwesimbawo ku bwannamunigina ku kifo kya Pulezidenti w’eggwanga.

Kalyesula
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

BENJAMIN Kalyesubula ayabulidde ekibiina kya NUP n’alangirira okwesimbawo ku bwannamunigina ku kifo kya Pulezidenti w’eggwanga.
Agamba nti abadde mwogezi wa kibiina kya NUP mu distulikitti y’e Nakaseke naye akizudde ntimu NUP temuli demokulase era abamu banyigirizibwa. “ Tugamba
twagala kuggyako mukulembeze atunyigiriza kyokka ne gwe tuleeta si mwenkanya era abavubuka abamu babuzaabuzibwa,” Kalyesubula bwe yagambye.
Okwogera bino yasinzidde mu lukuhhaana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza e Nankulabye mu Kampala. Yakunze Bannayuganda okumwegattako era n’asuubiza
nti waakutereeza ebyenjigiriza n’ebyobulamu nga n’okusingira ddala essira waakulissa ku
kulwanyisa enguzi gye yagambye nti ezihhamizza enkulaakulana y’eggwanga n’okulemesa bannansi okutuusibwako obuweereza.