Amawulire

Abakadde basiimye minisitule y'ebyobulamu okubateerawo amalwaliro

ABAKADDE mu ggwanga bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lwa Minisitule y’ebyobulamu okutondawo amalwaliro gaabwe ag’enjawulo okubayamba ku birwaddwe ebibadde bibagoya nga tebalina gye baddukira.

Abakadde abaabadde mu musomo, abakulembeze okuva mu Helpage Advocacy Network Uganda, Reach a Hand, Omusawo Moses Muwanga, n'abala
By: Peter Ssuuna, Journalists @New Vision

ABAKADDE mu ggwanga bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lwa Minisitule y’ebyobulamu okutondawo amalwaliro gaabwe ag’enjawulo okubayamba ku birwaddwe ebibadde bibagoya nga tebalina gye baddukira.
Ekyama kino kyabotoddwa Dr. Moses Muwanga okuva mu minisitule eno ku lunaku lw’okukuza obujjanjabi bwa bonna okwetoloola Uganda ng’essira lyateereddwa ku bakadde okufuna obujjanjabi obwamangu ate ku bisale ebya wansi.
Yasinzidde Lungujja ku mukolo aba Helpage Advocacy Network Uganda gwe beegasse ne Reach a Hand okuyamba ku bakadde bano okubasomesa ku ngeri gye basobola okwerabiriramu naddala mu ndya enaabayamba okufuna obulamu obulungi.
Dr. Muwanga agamba nti bulijjo balina okusoomozebwa nti abakadde babadde baalekebwa ebbali kyokka gye buvudde baataddewo amalwaliro gaabwe bokka n’ekigendererwa kya bano okufuna obujjanjabi nga tebataaganyiziddwa na bantu balala.
Yabawadde amagezi okugenda mu malwaliro amatuufu okufunayo obujjanjabi obutuufu n’agamba nti obujjanjabi buteekeddwa okubeera nga bwa bwerere.
Abakadde abamu balina ebizibu ebirala okwawukana n’endwadde z’abakadde okugeza abamu bajja ng’ekimuleese kya kuba nga takyakola bulungi mu nsonga z’ekisenge. Ono yabacoomedde okwewala okukozesa eddagala ly’amaanyi g’ekisajja ekiyinza okubaviirako okufa amangu.
Ssentebe wa Helpage Advocacy Network Uganda Aurther Namara, yagambye nti abakadde balina endwadde z’olukonvuba nga Sukaali, puleesa, emitima kyokka nga tebalina ssente, wadde Yinsuwa ezibakwatirako kyokka nga n’ebyobulamu byasereba.
Yagambye nti kino kyabaggyeyo okubatwalirako n’okubasakira obujjanjabi nabo okutwalibwa ng’abomugaso mu ggwanga.
“Tukimanyi nti mu Uganda, abantu bangi tebasobola kwetwala mu ddwaliro, nga ne bw’aba afunyemu akasente, agula ddoozi ya lunaku lumu tukubiriza Gavumenti okusoosowaza eby’obujjanjabi okusingira ddala eby’abakadde.” Namara bwe yagambye.
Benson Muhindo okuva mu Reach a Hand Uganda, agamba nti balina ekigendererwa ky’okuba nti buli ag’enda mu ddwaliro asobola okulaba omusawo n’akubiriza n’abavubuka nabo okufaayo okwekebeza.
Kkamisona w’abakadde mu minisitule y’abakozi, Patrick Mmenya yagambye nti, embalirira y’ebyobulamu ku bakadde ntono, eddagala ttono ate nga lya buseere.
Ono yagambye nti mu kiseera kino, minisitule ye yasaze emyaka gy’abakadde okuva ku 80 okudda ku 65 era ne ssente n’ezongoza okuva ku 25000 okutuuka ku 35000 ezinaabayamba okufuna ku by’etaagisa eby’amangu.
Omukadde Mary Babirye Nakalema 92, yeebazizza aba HANU okubakwatirako n’okubasomesa n’agamba naye agenda kusomesa bakadde banne ku ndya ey’omulembe basobole okuwangaala

Tags: