POLIISI erabudde abakulira amasomero okukomya okusuza abayizi abangi mu bisulo kubanga bwe bikwata omuliro kikalubya okubataasa.
Okulabula kuno kukoleddwa Godfrey Okwobo, akulira ebikwekweto mu kitongole kya poliisi ekivunaanyizibwa ku omuliro mu ggwanga bwe yabadde ayogera ku muliro ogwakutte ebisulo by’essomero lya Kisaakye Day and Boarding Primary School e Mengo ku Lwokuna.
Okwoba yateegeezza nti wadde tewali muyizi yafiiridde mu muliro guno naye ebisulo babadde baabipakira abayizi ekikontana n’amateeka ga minisitule y’ebyenjigiriza agafuga amasomero g’ebisulo. Yagambye nti singa omuliro guno gw’abadde gukutte mu kiro ng’abayizi beebase kyandibadde kizibu okubataasa olwakanyigo akali mu bisulo byabwe.Essomero eryayidde ly’eyali Omulabirizi w’e Namirembe, Samuel Balagadde Ssekadde nga liriraanye ekitebe kya FUFA e Mengo.
Omukulu w’essomero lino, Paul Kibwika yateegeezezza nti omuliro gwatandise ku ssaawa nga 5:30 ez’oku makya ng’abayizi bali mu bibiina era gwatandikidde mu kisulo ky’abayizi abalenzi ku mmita bbookisi ne gulanda nga gudda ku kibiina ekyokusatu, ofiisi n’ekisulo ky’abayizi abawala ne bisaanawo n’ebintu byonna ebyabaddemu.
Kibwika yategeezezza nti, ekintu kyasoose kubwatuka omuka ne gutandika okunyooka ekyaddiridde mifaaliiso kutandika kwaka, engoye n’ebitabo by’abayizi.
AMASOMERO AGAZZE GAKWATA OMULIRO
l October 25, 2022 Salaam School of the Blind & Deaf Mukono yakwata omuliro abayizi 11 ne bafa.
l April 24, 2017 Mother Majeri P/S Kirinnya, Bweyogerere.
l August 15, 2016 Welden College Mbarara.
l September 21, 2019, Rugarama Nursing School.
l April 24, 2016, Mbarara High School.
l February 21, St. Jude P/S Nakasongola.