EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku kiwandiiko n’okugaba densite mu ggwanga ki National Identification and Registration Authority ( NIRA) kirangiridde enteekateeka okugenda mu bitundu okusobozesa abazirina okuzifuna.
Claire Ollama omu ku bawandiisi mu NIRA yagambye nti okugenda mu bitundu eby’enjawulo okugaba densite kiddiridde okukizuula nti abantu bangi bakaluubiriziddwa okuzifuna olw’omuwendo omungi kwe kusalawo okufuna ennaku ne bagenda mu bitundu.
Yagambye nti enteekateeka y’okugaba densite egenda kubeera mu disitulikiti ez’enjawulo okutandika nga April 15, 2026 nga etandikidde Wakiso nga abava e Nansana ne Wakiso Town Council baakugenda Nabweru awali ofiisi za Nira , Kyengera ku ofiisi z’ekitongole, n’awalala.
Yategeezezza nti NIRA tesobola kugenda buli kitundu kuba embalirira yaayo tegisobozesa kyokka nga balina okutuusa embeera z’ekitongole okutuuka mu bantu bafune densite zaabwe.
Ollama era yagambye nti NIRA egenda kuwandiika abagwira bonna naddala abo abayita mu mitendera nga bayingira eggwanga nabo basobole okufuna kkaadi eziboogerako nga kino kigenda okutuusa nga May 5, 2026.
Yagambye nti enteekateeka eno ekwata kw’abo abagwira abalina ebiwandiiko bye bagenda okuwaayo mu ofiisi za NIRA wamu n’okusula ddoola 100 mitwalo 36 (ddoola 100) era nga abaagala empeereza eno balina okuwaayo ebiboogerako mu paasipooti, empapula ezibakkiriza okubeera mu ggwanga.