POLIISI y'ebidduka ng'eri wamu n'abaminisitule y'entambula, bakoze ekikwekweto e Maya ku luguudo lw'e Masaka ne bakwata baddereeva abatalina bisaanyizo n'abo abatagoberera mu mateeka ku nguudo.
Essira, basinze kulissa nnyo ku bbaasi n'emmotoka ennene eza Sino truck era nga waliwo be bakutte ne babaggalira olw'okulemererwa okugondera ebiragiro.
Amyuka akulira poliisi y'ebidduka mu ggwanga, Norman Musinga, agambye nti si baakussa mukono, okutuusa nga waliwo ekikyuse ku nguudo okulwanyisa obubenje.
Musinga alaajanidde abavuzi b'ebidduka naddala ebinene n'ebyo ebisaabaza abantu, okugondera ebiragiro, okwewala okutikka akabindo, obutavuga ndiima n'okwewala okuyisiza mu bifo ebikyamu