Ekitongole ky'amakomera kitegeezezza nga Col. (RTD) Kizza Besigye bwe yasiibuddwa okuva mu ddwaaliro e Mulago n'adda mu mikono gy'abasawo b'eddwaliro ly'amakomera e Luzira.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa ekitongole ky'amakomera nga kuliko omukono gw'omwogezi Frank Baine Mayanja, ategeezezza nti baamusiibudde nga Aug 7.
Agamba nti mu kiseera kino embeera ye egenda etereera era nga n'abooluganda lwe wamu n'abasawo be, abafuna bulungi.
Asabye abantu okwewala okuwubisibwa n'ebigambo by'obulimba ebibadde bibungeesebwa abantu abeenonyeza ebyabwe.