Ddereeva wa Sinotruck agambibwa okuvuga ng'atamidde, poliisi emukwatidde e Maya ku luguudo oluva e, Kampala okudda e Masaka.

Sinotruck gye yabadde avuga
Martine Oponya 25, agambibwa okuba ng'abadde avuga loole eno nnamba UA 367AM, bamukwatidde ku musanvu e Maya oluvannyuma lwa poliisi y'ebidduka e Mpigi okumuyimiriza n'atayimirira.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Michael Kananura, agambye nti okumwekebejja abadde atamidde nga talina na layisinsi emukkiriza kuvuga.

Akuuma akapima omwenge kaalaze nga yabadde atamidde ng'aweddeyo.