Poliisi ekutte abasamize 2 ku by'okusanga eng'umba z'abafu n'omulambo mu ssabo lyabwe

POLIISI y'e Luweero ekutte abasamize babiri ku kyalo Kiryanyonza mu muluka gw'e Nakikoota mu ggombolola y'e Luweero bagiyambeko okubuuliriza ku mulambo n'engumbagumba z'abafu ebyasangiddwa mu ssabo lyabwe.

Poliisi ekutte abasamize 2 ku by'okusanga eng'umba z'abafu n'omulambo mu ssabo lyabwe
By Samuel Kanyike
Journalists @New Vision
#Amawulire #Poliisi\ #Kukwata #Luwero #Mateeka

POLIISI y'e Luweero ekutte abasamize babiri ku kyalo Kiryanyonza mu muluka gw'e Nakikoota mu ggombolola y'e Luweero bagiyambeko okubuuliriza ku mulambo n'engumbagumba z'abafu ebyasangiddwa mu ssabo lyabwe.

Sam Mutyaba 63, ne Kevin Sebina be baakwatiddwa olw'okusanga ebisigalira by'abafu mu ssabo.

Ebisigalira Poliisi Bye Yasanze Mu Ssabo.

Ebisigalira Poliisi Bye Yasanze Mu Ssabo.

Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti okukwata abantu bano kyaddiridde okutemezebwako olw'abantu abaaziikibwa mu ssabo.

Bwe baalyazzizza ne bazuula akawanga n'engumbagumba ku ludda olumu ssaako omulambo ogwabadde gutandise okuvunda ku ludda olulala.

Twineamazima ategeezezza nti ebisigalira byatwaliddwa mu ggwanika e Kasana okwongera okwekebejjebwa.

Poliisi enoonyereza ku bantu babiri abagambibwa okuleeta abagenzi mu ssabo lino bavunaanibwe okutaataaganya eddembe ly'abafu.

Poliisi esabye abalina kye bamanyi ku kikolwa kino okugiyambako okubuuliriza.