Abantu 27 abagambibwa okuba ab’omutaawana mu kutema, okufumita abantu ebiso n'okubakuba ennyondo ne bababba, bakwatiddwa poliisi mu Kampala ne Wakiso.
Poliisi etandikiddewo ebikwekweto nga bukyali, okufuuza abakyamu, ennaku enkulu zigende okutuuka, ng'obumenyi bw'amateeka bukendedde.
Mu kikwekweto ekikoleddwa e Kabalagala mu diviizoni y'e Makindye, bakutte abavubuka babiri n'ennyondo, akaso n'enjaga, ng'ekikwekweto kino, kiyindidde mu Kamwanyi zzooni. Kigambibwa nti baludde nga batigomya abatuuze mu kitundu ekyo.
Ate e Masajja ne Nnyanama mu munisipaali y’e Makindye Ssaabagabo, e Wakiso, bayodde 25 era nga bakuumirwa ku poliisi e Katwe ng'omwogezi wa poliisi mu Kampala Racheal Kawala, bw'annyonnyola.