Omukazi agambibwa okukasuka omwana we ow'emyezi 9 mu kaabuyonjo n'afiiramu, poliisi emukutte ne bba e Kajjansi.
Omwana omulenzi attiddwa, ye Jeremiah Mugisha Anakeleti ng'abadde abeera ne bazadde be e Kigo Lunnya mu Makindye Ssaabagabo mu munisipaali e Wakiso.
Akwatiddwa ye Irene Nakalanzi 19 nga kigambibwa nti ali mu lukwe olw'okumutta. Taata w'omwana Joseph Segimana 37 omusiisi wa chappati naye poliisi e Kajjansi emulina.
Kino kiddiridde omusajja okusuulawo ffamire n'awasa omukazi omulala nga kw’agasse n'okuggya ebintu mu nnyumba ekyanyiizizza Nakalanzi nga kigambibwa nti we waavudde okusuula omwana mu kaabuyonjo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti omulambo baguggyeeyo ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.