Poliisi ekyagenda mu maaso n'okukunya omuvubuka ow'emyaka 23 agambibwa nti aludde ng'amenya amayumba n'amaduuka n'abbamu ebintu.

Ebimu ku bintu ebigambibwa okuba ebibbe.
Ono bamukwatidde Nabweru South e Nansana mu Wakiso, oluvannyuma lw'okumenya amaduuka n'amayumba agawerako ne babbamu ttivvi, essimu n'ebintu ebiwerako.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire, agambye nti mu kwaza ennyumba mw'asula, bazudde ebintu ebiwerako ebigambibwa okuba ebibbe. Agasseeko nti bakyamukunya okuzuula abalala b’akolagana nabo.