NNAALONGO wa Polof. Kateregga, Jolly Shubaiha Kateregga avuddeyo ku bbaluwa ya poliisi y’ensi yonna gye baamuwandikidde nga bamuyita yennyonnyoleko ku kyapa kya yunivaasite ya East African University ky’agambibwa okubuzaawo.
Kiddiridde ekitebe kya poliisi y’ensi yonna mu Uganda (INTERPOL) okuwandiikira Nnaalongo ebbaluwa nga June 19, 2025 nga bamulagira okugenda ku ofiisi zaabwe e Kololo ku Lwokuna nga June 26, 2025 yennyonnyoleko ku nsonga z’ekyapa kya yunivaasite esangibwa e Kenya ky’agambibwa okubuzaawo.
Polof Kateregga ne nnaalongo we ng'omukwano gukyabasaza mu kabu.
Interpol y’e Kenya ye yawandiikidde eya Uganda oluvannyuma lw’okufuna okwemulugunya ku kyapa ekyabula ekya yunivaasite ya The East African University (TEAU) esangibwa e Kitengela, Kajiado e Kenya.
Nnaalongo mu kiwandiiko kye yafulumizza yagambye nti yunivaasite eyogerwako eya TEAU yatandikibwa bba Polof. Badru Kateregga nga bali wamu naye ekiseera we baabeerera mu bufumbo.
Yali musaale nnyo mu kutandika yunivasite kuba yali atuula ku lukiiko lw’abayima era nga ye mumyuka wa ssentebe w’olukiiko lw’ettendekero, era kimwewuunyisa okuwulira abagamba nti talina kakwate ku yunivasite eno.
Eky’okutwala ekyapa kya yunivaasite eno yakiwakanyizza n’agamba nti ekyo n’ebiwandiiko ebirala bingi eby’omugaso, byalekebwa Polof. Kateregga mu maka gaabwe e Buziga bwe yali agenda. Ebintu byonna abikuumye
bulungi mu ngeri y’obuvunaanyizibwa era tewali agezaako kubitwala.
Ekimu ku kitabula Nnaalongo kwe kulaba ng’ensonga z’amaka gaabwe ate waliwo abaagala okugifuula emisango gya nnaggomola n’ekigendererwa ky’okwonoona erinnya lye n’okusaasaanya obulimba.
Enkola eno alumiriza Polof. Kateregga nga bw’azze agyeyambisa okufuna obuwagizi mu bantu n’atuuka n’okumuwaayiriza nga bwe yali ayagala okusaanyaawo obulamu bwe.
Nnaalongo yagambye nti gyali tavangako mu maka gaabwe e Buziga n’abaana be. Mwetegefu nnyo okwanukula ku nsonga yonna mu ngeri y’obuvunaanyizibwa kuba muntu agoberera amateeka ebiseera byonna.
Mu kiseera kino nga bayita mu kusoomoozebwa, Nnaalongo yasabye abantu okubeera abenkanya era n’asaba Polof. Kateregga okukozesa amakubo amatuufu okusinga okulumiriza ebintu ebitali bituufu n’okumujwetekako emisango.
Ensonga eziriwo Nnaalongo agamba za maka gaabwe ezitalina kuyingizibwa mu nkulaakulana ya byanjigiriza gye bazimbidde ebbanga mu East Africa. Yunivaasite ya The East African University y’emu ku matendekero ga Polof.
Kateregga nnannyini Kampala University.