Polof.Kateregga alangiridde Jihad eri abeesomye okutwala emmaali ye
OMUTANDISI wa Kampala University Pulofeesa Badru Kateregga alangiridde Jihad ku kakundi ka Bamafia abeesomye okumubbako emmaali ye.
Prof.Kateregga ng'annyonnyola
By James Magala
Journalists @New Vision
OMUTANDISI wa Kampala University Pulofeesa Badru Kateregga alangiridde Jihad ku kakundi ka Bamafia abeesomye okumubbako emmaali ye.
Pulofeesa Kateregga asinzidde mu lukungaana lwa Bannamawulire lw'atuuzizza ku Kampala Univerity e Ggaba n'alayira nti mwetegefu okufafagana ne Bamafia abeesomye okutwala emmaali ye nga bekobaana ne mukyala we Jolly Shubaiha.
Bw'abadde anyonnyola Pulofeesa Kateregga ategeezezza nti okuva lwebaafuna obutakkanya ne mukyala we Shubaiha Irankunda n'atuuka n'okumugoba mu maka ge agasangibwa e Buziga tafunye mirembe olwa baayise Bamafia abaagala okumukozesa mukyala we okumunyagako Emmaali ye n'awera nti wakufafaagana nabo.
Pulofeesa alumirizza b'ayise Bamafia okuwa mukyala we amagezi okumunyigiriza basobole okutwala Emmaali n'ategeeza nti bonna yabategedde nti era tagenda kubakkiriza kuzannyira mu Mmaali ye gy'atuuyanidde emyaka gyonna gy'akoledde.
Mu ngeri y'emu Pulofeesa alaze obutali bumativu olw'engeri emisango gyeyaloopa ku Poliisi gyezikwatiddwamu n'ategeeza nti wadde Ssabaduumizi wa Poliisi Abaasi Byakagaba yalagira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kunoonyereza ekya CID okukola ku nsonga ze adde mu maka ge ag'e Buziga nti kyokka mpaawo kyali kikoleddwa ng'alumiriza nga bwewaliwo abanene mu Poliisi abali emabega w'omuvuyo guno.
Bo Bannamateeka ba Profeesa Kateregga okuva mu Muwema and Company Advocates nga bakulembeddwamu Munnamateeka Fred Muwema bagambye nti eddembe lya Pulofeesa lirinnyiriddwa nnyo n'atuuka n'okugobwa mu maka ag'e Buziga era n'ategeeza nti bakukola kyonna okulabanga afuna obwenkanya.