Bya Stuart Yiga ne Madina Ssebyala
PAASITA Henry Nyanzi, asumba ekkanisa ya Seeta Victory Cathedral, esangibwa e Seeta-Mukono, asuddewo mukazi gwe yagattibwa naye empeta, n’awasa omukazi omukazi omulala eyategeerekese nga Priscilla Kanyenyezi.
Kanyenyezi, abadde omu ku bayimba mu kkwaya y’ekkanisa ya Paasita Nyanzi, era nga mwana nzaalwa y’e Fortportal.
Nga tanneegatta ku kkanisa eno, yasooka kukuba kyeyo mu ggwanga lya Kuwait, eyo, gye yava n’atandika okuweereza Mukama, era nga Paasita gye yamwegombera.
Amaka Ga Paasita Henry Nyanzi Omubeera Mukyala Mukulu Gwe Yalekawo Agasangibwa E Bajjo Mukono2
Abagole baagattiddwa ku kkanisa eno yennyini wakati mu bukuumi obwamaanyi, olw’okutya mukyala mukulu okuleetawo akasattiro.
Oluvannyuma baagabudde abagenyi baabwe ebyokulya n’okunywa ku kifo ekiwummulirwamu ekiyitibwa Praclos Gardens, ekisangibwa e Mukono, ku luguudo oludda e Kayunga.
Gwetabiddwaako bannabyabufuzi okuva mu nsonda ez’enjawulo, okwabadde; eyali ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono Andrew Ssennyonga, eyali Mmeeya wa Munisipaali y’e Mukono-George Kagimu, Ssentebe wa Mukono Central Divisoni-Peter Robert Kabanda, ssentebe wa NRM e Mukono, n’abalala.
Ebirala ojja kubisanga mu lupapula lwa Bukedde.