Omujulizi asoose mu gw'okulebula Musumba Kayanja obujulizi abuwadde talayidde n'aleka ebibuuzo

Omujulizi asoose mu gw'okulebula Musumba Kayanja obujulizi abuwadde talayidde n'aleka ebibuuzo 

Ekkooti ng'enda mu maaso
NewVision Reporter
@NewVision
ABAWAWAABIRWA mu gw’okulebula omusumba w’e Kkanisa ya Miracle Centre Cathedral Lubaga, Robert Kayanja batandise okuwa obujulizi, asoose abuwadde talayidde ekiresseewo ebibuuzo ku by’ayogedde!
 
Martin Kagolo 24, omutuuze w’e Makindye y’asoose mu kaguli era asoose kwogera engeri gye yeegatta ku kkanisa eno mu August wa 2016 nga mulenzi muto nnyo era Omusumba yamulabira mu mpaka za mupiira ezaali zitegekeddwa.
 
Kagolo ategeezezza nti okuva olwo, yatondawo enkolagana n’omusumba ng’ayitira mu bamu ku bayambi be gwe yayise Capt. Makumbi eyamuyambanga okumutuukangako butereevu.
 
Bino yabadde abinnyonnyola omulamuzi wa Kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo, Adams Byarugaba, wakati mu lujjudde lw’abantu obwedda abeewunaganya ku muvubuka obujulizi bw’awa.
 
Yannyonnyodde nti, Pr. Kayanja yamwagala nnyo ng’omuvubuka amanyi emirimu era yamusemba n’okugenda okutendekebwa mu by’ekipoliisi e Kabalye Masindi gye yafuna obukodyo mu by’okwerinda.
 
Ng’avudde eno oluvannyuma lw’emyezi etaano (5), yaweebwa obuvunaanyizibwa obw’enjawulo obw’ebyokwerinda omwali n’okukuuma omusumba mwennyini ku lusegere kwossa ne mukyala wa Bugingo Teddy Naluswa n’abakungu ab’enjawulo.
 
Kagolo agamba nti, ng’amaze okusemberera omusumba, kyamubeerera kyangu okumusabanga by’ayagala era n’amusuubiza okubimukolera era anyumya ng’obulamu bwe bwali butandise okukyuka ng’amuwa ku ssente entakera.
 
Nga n’amaziga akulukusa, yabotodde ekyama nti lumu ssaawa musanvu ogw’ekiro ssaavisi ng’ewedde, omusumba yamuyita mu woofiisi ky’agambye nti eno gye yalabira eby’ewuunyisa.
 
Yanyumizza nti Kayanja yatandika okumukwatirira mu ngeri y’omukwano era ekyaddako mbu kwali kumusulika nnenge era nti eno yali ayambibwako omusajja omulala gwe yayise Machete.
 
Agamba nti tekyakoma okwo era yagendanga mu maaso bw’amukozesa wakati mu kumuwa ssente n’okumusuubiza okulinnya ennyonyi ssaako okumuvugiranga mu mmotoka ez’ebbeeyi.
 
Yategeezezza nti ate oluvannyuma ensi yamufundirira ng’ebisuubizo bigaanyi okutuukirizibwa ne batuuka n’okumugoba mu nnyumba Paasita gye yali yamupangisiza.
 
Yagezaako okumutuukirira nga takyenyenya olwo n’asalawo okumulumba mu ngeri y’okumubanja ssente. 
 
Yannyonnyodde nti ku lunaku Paasita lwe yabasuubiza okubawa ssente nga September 17, 2021 ate ku ggeeti yassaawo bamafia abaabalemesa okumutuukako era ku olwo lwe baakwatibwa okubatwala ku Poliisi ya Kampalamukadde gye yagambye nti ye teyagyibwako sitaatimenti.
 
Yakomekkerezza asaba omulamuzi okumanya omusango gwabwe gye gwakoma gwe baawawaabira Kayanja okubasulika ennenge.
 
Olw’okuba yabadde talayidde, oludda oluwaabi olwabadde lukulembeddwamu Omuwaabi wa Gavumenti Jonathan Muwaganya terwamubuuzizza bibuuzo era kkooti n’egwongerayo okutuusa nga May 9, 2025 lwe gunaddamu n’abajulizi abalala

Login to begin your journey to our premium content