Dr eyeekebejjezza abaabijweteka nga Paasita Kayanja bw'abavuga empanka awadde alipoota

OMUSAWO eyakola ogw’okukebera abagambibwa okwogera kalebule ku Musumba w’ekkanisa ya Miracle Centre Cathedral e Lubaga, Robert Kayanja awadde obujulizi mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo n’ategeeza nti bonna yasanga balamu so ssi nga bwe baali bagamba nti baatusibwako ebikolwa by’ekikukujju.

Dr eyeekebejjezza abaabijweteka nga Paasita Kayanja bw'abavuga empanka awadde alipoota
By Peter Ssuuna
Journalists @New Vision
#Paasita Kayanja #Miracle Centre Cathedral e Lubaga #Nateete #Rubaga #Lubaga #Mmengo
OMUSAWO eyakola ogw’okukebera abagambibwa okwogera kalebule ku Musumba w’ekkanisa ya Miracle Centre Cathedral e Lubaga, Robert Kayanja awadde obujulizi mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo n’ategeeza nti bonna yasanga balamu so ssi nga bwe baali bagamba nti baatusibwako ebikolwa by’ekikukujju.
 
Dr. Sam Kalungi 49, omusawo omukugu eyeebuuzibwako ku ddwaaliro ekkulu e Mulago ng’omulimu guno agumazeemu emyaka egisukka mu 20 ng’akulembeddwamu omuwaabi wa Gavumenti Jonathan Muwaganya,  yategeezezza omulamuzi Adams Byarugaba nga bwe yakebera abavubuka bano n'amugamba bye yazuula.
 
Mu kutandika, yasoose kwennyonnyolako bukugu bwe mu mulimu guno era n’agamba nti okubakebera, yasooka kufuna bbaluwa okuva ku Poliisi eyitibwa “Police Form 3A” nga September 21, 2021 eyamuleetebwa ku ddwaliro e Mulago era buli gwe yakeberanga yasookanga kumutegeeza nsonga emuleesezza mu ddwaliro.
 
Kalungi yannyonnyodde nti yasooka ne Peter Sserugo eyamugamba nti ye ne banne baali bagenze ew’Omusumba Kayanja okubanja ssente zaabwe 'mbu' ze yali yamukolerako eby’ekikukujju wakati wa 2017 ne 2021.
 
Omusawo yategeezezza nti bwe yamukebera n’akizuula nti yali mulamu katebule, obwongo, ebitundu bye eby’ekyama, akabina, nga byonna biramu tteke ate nga talina wadde ekiwundu newankubadde okuvaamu omusaayi mu kabina.
 
 
 
Yagenda mu maaso n’akebera abalala okwali Reagan Ssentongo, Moses Tumwine, Labeeb Kalifa, Alex Wakamala, Martin Kagolo bonna baayogera kye kimu nti baali bagenze ku kkanisa ku bya ssente z’ebikukujju ne bakwatibwa era bonna kyazuulibwa nga balamu okujjako Sam Magomu eyamutegeeza nti yali agenze kubanja ssente ze yakoleranga ku ffaamu e Kiryandongo era naye yali mulamu.
 
Balooya b’abawawaabirwa nga bakulembeddwamu kkanso Hamphrey Tumwesigye baatandise okukunya omusawo era ekimu bibuuzo ebyamukaluubirizza okwanukula nti,  omujulizi Sam Magom yategeeza kkooti nti mu kubakebera waaliwo abantu abalala mu kasenge kyokka ye agamba waaliwo muserikale wabula Kalungi mu kuddamu yategeezezza nti takyabijjukira ebyali bigenda mu maaso era ye ajjukirako omuserikale omu yekka era nga naye tamumanyi linnya.
 
Ekirala lwaki yakebera omuntu (Magomu) ate nga yamutegeeza nti teyakolebwako kintu kyonna era yayanukudde nti ebiragiro byonna yali abifuna okuva ku Poliisi.
 
Omujulizi ow’omusanvu Collins Kisakye 26, naye wadde obujulizi obufaanana ne banne bwe baasooka okuwa wabula teyabumazeeko oludda oluwawaabirwa ne lutandika okubanja ebizibiti by’ennamba z’amasimu by’abadde ayogerako era kkooti omusango n’egwongezaayo okutuusa nga February 7, 2024 lw’enaasalawo ku kino.
 
Abawawaabirwa kigambibwa baalumba ekkanisa ya Paasita Kayanja nga September 17, 2021 ne bamwogerako kalebule nga bwe yabatusaako ebikolwa by’ekikukujju ne bakwatibwa kati gwe bawerennemba nagwo.