Amawulire

P14Minisitule etongozza obukebera omusujja gw’ensiri obukoleddwa wano

MINISITULE y’ebyobulamu etongoza obuuma obukoleddwa wano mu ggwanga obweyambisibwa mu kukebera endwadde omuli siikoseero, akawuka ka siriimu n’omusujja gw’ensiri.

Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja (ku kkono) ng’atongoza obukebera.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

MINISITULE y’ebyobulamu etongoza obuuma obukoleddwa wano mu ggwanga obweyambisibwa mu kukebera endwadde omuli siikoseero, akawuka ka siriimu n’omusujja gw’ensiri.
Uganda ebadde egula obuuma buno buli mwaka okuva ebweru w’eggwanga ng’esaasaanya obutitimbe bw’ensimbi okubutuusa wabula yaakukendeeza ku nsaasaanya yaayo nga bukolebwa mu ggwanga.
Abakungu okuva mu Gavumenti balaze nti, obuuma buno obukoleddwa okuva mu ggwanga bwakugulwa 1,500/- nga kyakwanguyira Bannayuganda okubwetuusaako okusingako obwo obubadde butundibwa 5,000/-.
Ssaabawandiisi wa minisitule y’ebyobulamu, Dr. Diana Atwine yategeezezza nti, enkola eno eyongedde okulaga nti, Uganda ekulaakulana era yaakwongera okwang’anga endwadde ezitali zimu.
Agamba nti, ng’oggyeeko okukendeeza ensimbi eggwanga lye zibadde lisaasaanya, Bannayuganda bajja kwanguyirwa okufuna obuuma obwekebeza okuzuula obulwadde bwe balina basobole okufuna obujjanjabi mu budde, okutondawo emirimu eri bannassaayansi mu ggwanga n’okwongera okuyamba eggwanga okwetegekera ebyobulamu.
Minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng yategeezezza nti, okwekolera obuuma obweyambisibwa mu kukebera endwadde tekikoma kuyamba ggwanga kufissa nsimbi, wabula kiyamba mu kukuuma obudde mu kukomya obulwadde mu bwangu okusinga okubulinda busaasaane.
Agamba nti, okutongoza kuno kubayambyeko okutuukiriza enkola y’okwekolera ebintu wano mu ggwanga eya ‘BUBU’ (Buy Uganda Build Uganda) era obuuma buno obukebera bwaguliddwa dda ne bugabibwa mu malwaliro okwetooloola eggwanga.
Gavumenti yaakwongera okulondoola okukakasa nti, ebintu byonna ebikolebwa mu ggwanga bituukana n’omutindo gw’ensi yonna.
Ssaabaminisita Robinah Nabbanja, eyabutongozza yategeezezza nti, batuukiriza ekyo Pulezidenti Museveni ky’akubiriza nti, Uganda erina okukulembeza okwekolera ebintu byayo egule ebyo byokka by’etesobola kukola okuva ebweru w’eggwanga.
Cedric Akwesigye, omutandisi wa Microhaem Scientific, kkampuni egenda okukola obuuma buno obukebera endwadde yategeezezza nti, omwaka gwa 2030 gunaagenda okutuuka nga Uganda yeekolera obuuma bwayo okwekebeza endwadde ezitali zimu okukendeeza okukozesa ebintu ebiva ebweru.
Yategeezezza nti, obuuma buno bwakakasiddwa mu ggwanga n’ebweru waalyo era bukola 100 ku 100 okubalaga ebituufu era y’ensonga lwaki Gavumenti yabutadde mu malwaliro gonna.
Omukolo gwabaddewo ku Lwokuna ku Serena Hotel nga gwetabiddwaako abakungu ab’enjawulo okuva mu minisitule y’ebyobulamu n’ebitongole bya Gavumenti ebirala.

Tags: