ENGUUDO eziri mu kukolebwa e Kazo zicamudde abatuuze n’abakulembeze oluvannyuma lw’okumala ebbanga eddene nga balaajana.
Zino kuliko; Nsamba Road oluva ewa Keti Falawo ku lwa Bombo Road okuyita mu zooni ya Kazo Angola okugatta ku lwa Kazo-Lugoba, n’oluva e Kazo okudda ku ssomero lya Yudesi.
Abatuuze baategeezezza nti, baludde nga balaajanira abakulembeze ku munisipaali y’e Nansana n’eya Kawempe babakolere ku nguudo zino wabula nga buli kadde bakoma ku kubasuubiza. Ne basiima olw’okubakolera enguudo ze baagambye nti, zigenda kutumbula enkulaakulana ne bizinensi zaabwe okusituka. Ssentebe wa Kazo Central I,
Meddy Mugerwa yeebazizza aba UPDF Engineering Bridgade abakola oluguudo oludda ku ssomero lya Yudesi okugatta ku liva e Nabweru okudda e Katooke n’ategeeza nti balikoze bulungi.
N’agattako nti, kino kigendakubayamba okukendeeza ku kalippagano k’ebidduka kuba ekibadde kigaana emmotoka okuyitayo, y’embeera embi ekkubo mwe libadde ne yeebaza Gavumenti olw’okubalowoozaako. Kkansala w’omuluka gwa Kazo Angola, Tonny Lukyamuzi Bafakulera agamba nti, ebidduka bibadde tebikyayita mu kitundu kyabwe olw’embeera embi ey’enguudo n’agamba nti kino kibadde kibakuumira mabega.
Lukyamuzi yeebazizza abantuolw’okukkiriza ne bawaayo ebibanja n’ettaka lyabwe okusobozesa omulimu gw’okuzimba ekkubo okugenda mu maaso n’asaba Gavumenti
okuliyirira abanaakosebwa olw’okukolebwa kw’ekkubo. Ssentebe wa Kazo Angola, Jane Namukasa Nakaye yategeezezza nti okukolebwa kw’omwala gwa Nakamiro kwatumbula
enkulaakulana mu kitundu ate bwe baagasseeko okubakolera oluguudo, ne kiyitirira