KOOKOLO w’omumwa gwa nnabaana emu ku ndwadde ezisinga okutawaanya abakyala mu ggwanga, kyokka nga nnyangu ya kutangira singa abasajja bassaayo omwoyo ku baagalwa baabwe.
Ekimu ku bintu ebyangu okukola ye musajja okwekomoza n’asobola okulwanyisa okusiiga omukyala akawuka akaleeta kookolo ono. Abamu bakyalowooza nti, okukomola kwa buwangwa nga bwe tukiraba ku mawanga agamu, n’abalala nti,
kwa ddiini ezimu ne batamanya nti, kya musago eri obulamubw’omusajja ate n’omukyala gw’wawasizza.
Augustine Tumusiime, omutuuze w’e Makerere Kivvulu yafunanga obutulututtu ku busajja bwe nga bumuluma nnyo ate ng’abeera yaakabujjanjaba, obulala ne budda. Agamba nti, kino kyamuwaliriza
okugenda mu ddwaaliro era bwe yatuukayo omusawo n’amuwa amagezi nti, okwewala endwadde ezo akkirize bamutayirire ekintu kye yakkiriza kubanga yali akooye okwonoona ssente nga yejjanjabisa.
Agamba nti, okuva olwo
taddangamu kufuna ndwadde
yonna eyali ezzeemu kumulumbaAbasajja bangi abafuna endwadde
olw’obucaafu kuba bangi tebamanyi kweyonja, ssaako okufuna endwadde okuva mu bifo ebijama nga ebinaabiro.
Godfrey Wasswa, omukugu mu kutayirira nga yakolako ne Makerere Joint Aids Program alaga obulungi bw’okukomola:
Omuntu bw’akomolwa, waliwo endwadde z’abeera yeegobyeko obulamu bwe bwonna. Okugeza obulwadde obukwata ku ddiba ly’omutwe gw’obusajja ne likaluba kumpi kwagala kuziba katuli akayitamu omusulo, singa omuntu akomolwa embeera
bw’eti abeera agyewonyezza.
Okukomola kikendeeza kumikisa gy’okufuna akawuka ka siriimu. Omusajja akomoleddwa
abeera n’emikisa 60 ku 100 obutakwatibwa kawuka ka siriimu. Kiyamba okwewala endwadde endala ez’obukaba okugeza kabootongo, enziku, amabwa. Omusajja omukomole abeera muyonjo kubanga kimwanguyira okunaaba n’atukula n’agoba n’akasu akandimuvuddemu olw’obujama. Omusawo agamba nti, okukomolwa kutaasa n’abasajja abalina omumwa gw’obusajja omufunda ne kibakaluubiriza mu nsonga z’omukwanoKikendeeza ku mikisa gy’okulwaza omukyala oba omwagalwa gwe weegatta naye kookolo w’omumwa gwa nnabaana kuba akawuka akamuleeta
katambulira mu kikuta kya busajja.