Omulabirizi w'e Namirembe, Moses Banja , avumiridde ebikolwa eby'obulyake n’enguzi ebimaamidde mu ggwanga, ng'omuntu okufuna obuweereza alina kusooka kuwaayo kintu kidogo n'alyoka olowoozebwako.

Maama Nnaabagereka mu kusaba
Banja era asabye abantu era okukomya ebikolwa eby'ekko ebirala okuli: ettemu, okutulugunyizibwa kwa bantu ,okusosola mu bantu, obutabanguko mu maka n'ebirala babikomye wakati nga bajjukira amazaalibwa ga Yesu.

Minisita Nabbosa Ssebuggwaawo (ku ddyo) mu kusaba
Bagambye nti Ssekukkulu sikulya buli mmere kyokka ,naye n'abantu okuggulawo obulamu bwabwe ne basembeza Yesu , nga kino kisoboka okutuukako bwe beewala okwenyigira mu bikolwa ebitaweesa katonda kitiibwa.
Era akubiriza abantu okusaasaanya enjiri ey'okwagala nga beenyigira mu bikolwa ebiraga okwagala gamba nga okugabana ku mukama by’abawadde n'abo abalala abatalina.

Kkwaaya eyakulembeddemu okusinza
Yakubirizza abantu okwenyigira mu kulonda kwa bonna omwaka ogujja era basse ekitiibwa mw’ebyo ebinaaba bivudde mu kulonda kubanga Katonda y’alonda abakulembeze.

EKibiina ekyakung'aanye okusaba e Namirembe ku lutikko
Okusaba kwetabiddwaako ebikonge okuva mu gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka n’eya wakati okuli maama Nnaabagereka Slyvia Nagginda, omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda Patrick Luwagga Mugumbule , minisita wa tekinologiya n’ebyassaayansi, Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo n'abalala.