POLIISI ekyagenda mu maaso n'okuyigga abazigu awamu n'emmundu ezizze zikozesebwa okutta abantu mu bitundu eby'enjawulo.
Kino kiddiridde ettemu eryakoleddwa ku ssentebe wa stage ya Salaama -Munyonyo ku wiikendi Omulangira Abdu Kimera ne bamutta ate mukyala we n'alumizibwa, omusuubuzi eyattiddwa e Kyengera, emmundu eyatta omukyala mu wooteeri e Kisolo n'awalala.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti okuyigga emmundu zino kugenda mu maaso era n'asaba abo bonna abalina amawulire , nabo okutuukirira poliisi, bagigawe.