EKIBIINA Kya NRM kirangiride enteekateeka y’okuzimba ebitebe by'ekibiina okwetooloola eggwanga nga baakutandikira mu disitulikiti 21.
Ssaabawandiisi w'ekibiina kino, Richard Todwong mu lukung’aana lw'abaamawulire ku kitebe ky’ekibiina, yatongozza pulaani kwe bagenda okutambulira mu kuzimba ebitebe bino.

Tadwong Ng'ayogera Eri Abaamawulire Wiiki Ewedde. Ku Ddyo Ye Nekesa.
Ebitundu ebirala awagenda okuzimbibwa ebitebe kuliko; Masaka, Mityana ne Mukono sso ng’ebitebe ebirala byakuzimbibwa e Mbale, Busia, Iganga, Kapchorwa, Katakwi, Nwoya, Kotido n’awalala.
Mu ngeri y’emu, Todwong yatangaazizza ku by’okuzimba ekitebe ky’ekibiina ekikulu n’ategeeza nti mu bbanga eritali lya wala, nakyo bajja kukitandikako nga mu kiseera kino KCCA ekyetegereza pulaani yaabwe.
Omumyuka wa ssaabawandiisi wa NRM, Rose Namayanja yalambuludde nti ettaka lye bagenda okuzimbako ebitebe bino lyabaweebwa abantu ssekinnoomu abaagazi ba NRM, eddala ne libaweebwa abakulembeze ba disitulikiti nga kye bagenda okukola, kwe kusooka okulyetooloola okuteereza obwannannyini okwewala enkaayana mu maaso.