EMYAKA 15 ng’eyaliko omuzibizi wa Cranes Savio Kabugo, eby’okwanjulwa abisala ekikuubo, yamaze n’akkiriza kabiite we Leila Nakyanzi n’amulagayo mu butongole ku mukolo ggaggadde.
Bakira buli Nakyanzi lw’afuluma okujja eri abagenyi ng’asaba obuyimba okuli; ‘Katonda y’abadde mw’eno ensonga’ ate nti ‘nnina bingi by’otanalaba’, ‘Owooma’ olwa Geosteady, ‘Muwoomya’ olwa Sheebah ne King Saha, ‘long time’ olwa Reign n’endala zonna nga zirumya.
Kyayitiridde Kabugo bwe yatuuse okuleeta ebirabo ebyajjuzza oluggya. Ate bwe yasabuukuludde kapyata w’emmotoka ekika kya Toyota Harrier Hybrid n’agisimba Nakyanzi, n'akulukusa amaziga ag'essanyu.
Omukolo gwabadde mu maka ga Sarah Jamida n’omugenzi Dalausi Katongole abazaala Nakyanzi ku kyalo Kikaaya mu muluka gw’e Kisaasi mu munisipaali y’e Kawempe mu disitulikiti y’e Kampala.
“Omukazi namufuna mu 2010, mbadde nkooye okubuuka emyala, wabula neebaza Katonda nti kiwedde, kati njagala Nakyanzi anzaalire ttiimu y’omupiira omuli n’abalongo, embaga y’eddako,” Kabugo bwe yategeezezza.
Kabugo azannyiddeko kkiraabu nnyingi wano mu ggwanga okuli; SC Villa, SC Victoria University, URA FC, Proline, Lugazi ne Ntebbe UPPC. Yaliko ku pulo mu; AS Vita Club (Kinshasa – DR Congo), Sebeta Kanema (Ethiopia) ne Jwaneng Galaxy (Botswana).
Cranes yagyegattako mu 2013 nga Uganda ezannya ogw’omukwano ne Rwanda, yazannya CHAN wa 2014, World Cup qualifiers 2017 n’empaka nnyingi wabula obuvune lwe bwamulemesa.