POLIISI ekyatubidde n'omulambo gw'omuvuzi wa bodaboda atomeddwa e mmotoka ku Nothern by pass n'afiirawo.
Akabenje kabadde kumpi n'ettaawo ly'e Kisaasi mu Kampala, mmotoka CAF King long Bus reg UA 19059AA egambibwa okuba eya Uganda Cranes bw'etomedde pikipiki nnamba UFB 122 F abadde agivuga n'afa.
Kigambibwa nti emmotoka eno ebadde evugibwa Khalid Ahmed egezezzaako okuwugula lukululana ebadde ejja nti mu mbeera eyo, kwe kutomera owa boda boda n'afiirawo.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesgyire, ategeezezza nti Bus ne pikipiki bitwaliddwa ku poliisi y'e Kira road ng'okunoonyereza kugenda mu maaso kyokka ng'amannya g'omugenzi , gabadde tegannamanyika