Amawulire

Omwana ow'emyaka ebiri agudde mu kidiba ky'amazzi n'afiramu

Abazadde baguddemu ekyekango, omwana waabwe ow'emyaka ebiri, bw'abebbyeko n'agwa mu kidiba ekikyazimbibwa ku muliraano n'afiiramu. 

Omwana ow'emyaka ebiri agudde mu kidiba ky'amazzi n'afiramu
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abazadde baguddemu ekyekango, omwana waabwe ow'emyaka ebiri, bw'abebbyeko n'agwa mu kidiba ekikyazimbibwa ku muliraano n'afiiramu. 

Ekikangabwa, kigudde mu zooni ya Kira cell mu munisipaali y'e Kira mu Wakiso, omwana omuwala nga mulongo, Elsie Apio , bw'asangiddwa mu kidiba ng'afudde. 

Kigambibwa nti ekidiba kino, Kiri  ku muliraano mu nnyumba etannaggwa, era nga kisuubirwa nti omwana abadde ne banne nga bazannya, kwe kigwamu. 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti, kitaawe David Oki nga pharmacist, yasoose kutambulamu n'abaana bano bombi abalongo, nti n'abazza awaka ng'aliko gy'agenda, naye kimubuseeko, maama w'omwana okumukubira essimu, nga basanze omulambo gwe. 

Agasseeko nti okubuuliriza, kukyagenda mu maaso, okuzuula oba nga wabaddewo obulagajjavu.

Tags: