Amawulire

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Gav't ku nkulaakulana y'ekibuga

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Gavumenti okufaayo ku mbeera n'enkulakulana y'ekibuga Kampala. 

Aba DP baaguze Satifikeeti ya 1,500,000/-
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Gavumenti okufaayo ku mbeera n'enkulakulana y'ekibuga Kampala. 

Mayiga yeebuzizza nti ku bukulembeze obufaayo, Kampala e ebeera etya n'enguudo eziri mu mbeera embi, nga terina ntambula ya Bbaasi n'emyala emifu nga buli nkuba lwetonya, ereeta amataba! 

Nobert Mao ng'ayogera e Bulange Mmengo

Nobert Mao ng'ayogera e Bulange Mmengo

Okwogera bwaati asinzidde ku mbuga y'Obwakabaka bwa Buganda enkulu e Bulange-Mmengo bwabadde akyazizza Beatrice Nambi Mao ng'ono avuganya ku kifo Kya Loodimeeya wa Kampala n'agamba nti Kampala alimu entuufu nga kyetaaga okufiibwako kubanga bwe bwenyi bwa Uganda.

Ng'ajjuliza Omubala gwa DP, ogugamba nti Amazima n'Obwenkanya, Mayiga agambye nti Bannayuganda beetaaga okufuna obwenkanya mu buli kikolebwa mu nsi yaabwe era bwebubeerawo, enkulakulana etojjera. 

Mayiga awadde eky'okulabirako ky'ebbula ly'obwenkanya mu Uganda ensangi zino n'alaga disitulikiti y'e Wakiso erina abantu abagenda mu bukadde bubiri ng'ekikkirirwa ababaka batono okusinga ab'e Karamoja erina abantu abatawera kakadde. 

Beatrice Mao yeebazizza Katikkiro okubawa omukisa Okukiika embuga n'okwanjula ebimu kweebyo byebaagala okukola okuli okuwa Kampala obukulembeze n'obukugu obwetaagisa okukulakulanya Bannakampala.
Beatrice Mao yeweeze nti bwanafuna obukulembeze bwa Kampala, wakulwanyisa enguzi ate n'okukangavula kkampuni ezo eziweebwa Kontulakiti okutuusa obuwereeza kyokka nebakola gaddibengalye.

Mayiga nga yeebaza Mao okujja e Bulange

Mayiga nga yeebaza Mao okujja e Bulange

Minisita wa Ssemateeka n'obwenkanya mu Uganda era nga ye Pulezidenti wa DP, Norbert Mao abuulidde Katikkiro Mayiga nga bwebaleetedde Bannakampala, omuntu Omukugu Abagamba okugonjoola ebizibu by'ekibuga ekikulu ekya Uganda kubanga balina enkolagana ne NRM ng'ejja kubasobozesa okukola obulungi emirimu. 
"Twasazeewo okuleeta Loodimeeya okulaga ensi nti DP ekyaliwo wadde waliwo enkolagana ne NRM naye eyo eringa bwoloba ekibiina kya IRCU, kirumu enzikkiriza zonna naye tekitegeeza nti okwegatta kwaazo kitegeeza nti Kati Mufti agenda kutandika okulya embizzi," Mao bwayogedde.
Mao agambye bbo ng'ekibiina bawagizi ba nsonga za Buganda okuli okuwagira enkola ya Federo gyayogeddeko ng'ejja okutumbula enkulakulana eyawamu ng'era enkola eno yagiwandiisemu ekitabo nti era ejja kuyamba Uganda okutuuka ku ntegeragana okulaba obukulembeze bwebuyinza okukwatibwamu. 
Bannakibiina kya DP Ababadde abangi beetise Oluwalo lwa 1,500,000/- okuwagira emirimu gy'Obwakabaka era Katikkiro Mayiga n'abasibirira entanda y'okutambulira ku Mubala gyaabwe ogw'amazima n'obwenkanya. 

Omukolo gwetabiddwako Baminisita ba Buganda okuli Noah Kiyimba ow'abagenyi, Israel Kazibwe Ow'amawulire ate Mao azze  n'abeesimbyewo ku mitendera gwonna mu Buganda

Tags: