Abavubuka b'e Lubaga balaajanidde Minisita w'abaana n'abavubuka ku bbula ly'emirimu erisusse erituusizza n'abamu okuyingira obubbi.
Babyogeredde mu lukungaana lw'abavubuka okubadde ku ssomero lya Kiteebi P/S e Lubaga olwategekeddwa ssentebe wa NRM e Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula wamu ne Minisita w'abaana ng'abavubuka mu ggwanga Balamu Barugahare.

Abavubuka nga bali ku Rally ya NRM
Kiddiridde abavubuka okumala ekiseera nga baloopera Majambere nga bbo bwetaweebwa ssente za gavumenti ez'okwekulaakulanya omuli PDM n'emyooga.
Kyawalirizza Majambere okutegeka olukungaana luno, naayita Minisita Balamu n'abakwatibwako ku ssente za PDM n'emyooga, n'abakulembeze ab'enjawulo okwabadde RDC w'e Lubaga Moses Ariho n'abamyuka be ne Meeya wa Kampala Central Salim Uhuru n'abakulembeze abalala e Lubaga nabo baabaddeyo.

Basoose kusanyuka n'abavubuka nebanyeenya ku galiba enjole, basanyusiddwa abayimbi okwabadde; Tonny Mbaziira ow'ebinyaanyanya ne Fik Gaza.
Minisita Balamu yaawadde abavubuka omukisa okwogera ebibaluma nebategeeza nti, ebbula ly'emirimu kisusse tebalina byakukola, baggyibwako ssente mu malwaliro ga gavumenti ate abamu nga baba bakimyeyo ddagala lya Kawuka ka siriimu, ssente z'emyooga ne PDM bbo tebazifuna, ekyamuwalirizza okuteeka abazikulira e Lubaga ku nninga, naasaba Ssentebe Majambere okulondoola enkola yaazo nabo abaggyibwako ssente mu malwaliro ga gavumenti nakyo kirondoolwe basobole okugonjoolwa.

Majembere ng'ayogera eri abawagizi ba NRM
Majambere ategeezezza nti, enkola y'okusinkana abantu ab'enjawulo maaso ku maaso egenda Kuzza emitima gy'abantu engulu, neyeebaza Minisita Balamu olw'okujja naabasisinkana.
Neyeebaza Akulira ebyensimbi mu maka g'obwa pulezidenti Jane Barekye wamu n'omuwanika wa NRM mu ggwanga Barbara Nekesa Oundo, olw'okuwulirizanga emiranga gy'abantu ba wansi kubanga beekbabasobozesa okubatuukako okubayamba, n'ategeeza nti bagenda kufuba kuluno NRM ewangulire waggulu ddala.
Minisita Balamu asuubizza okulondoola ebizibu by'abavubuka bano okulaba nga binogerwa eddagala nasuubiza okudda amangu ddala okutereeza buli ekibadde kikyamye, n'akuutira n'abavubuka okwettanira ebifo bya gavumenti ebitendeka eby'emikono bafune amagezi agabaako emirimu gyebayiga nebatandikawo kuba bya bwereere.
RDC w'e Lubaga Moses Ariho akakasizza Minisita nga bwebagenda okulondoola buli kizibu ekyogeddwaako okulaba nga binogerwa eddagala.

Majembere ne Balam nga boogera abawagizi ba NRM
Meeya Salim Uhuru ate nga y'omu ku bakulembeze ku lukiiko lwa NRM olw'okuntikko mu ggwanga, ategeezezza nti ensonga z'abavubuka ezoogeddwaako waakuzitwala waggulu mu bakulu zikolebweko.
Minisita Balamu ayise ababbi bonna abeetabye mu lukungaana Luno, era neweesowolayo abasoba ku 10 nebattottola ebizibu ebibabbisa omuli; ebbula ly'emirimu nti era singa bayambibwako okufuna eby'okukola, obubbi bagenda kubwabulira, nebategeeza nga bwebabulokose, bano Minisita Balamu alagidde RDC Ariho okuwandiika amannya gaabwe, bakwatibweko okuva mu bubbi.