Amawulire

Katikkiro alangiridde nti Amasiro ge Kasubi gawedde

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga alangiridde mu butongole ng’omulimu gw’okuzzaawo amasiro ge Kasubi agaakwata omuliro nga March 16, 2010  ng’olwaleero bwegujjiddwako engalo.

Katikkiro ng'annyonnyola ebikoleddwa ku masiro
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga alangiridde mu butongole ng’omulimu gw’okuzzaawo amasiro ge Kasubi agaakwata omuliro nga March 16, 2010  ng’olwaleero bwegujjiddwako engalo.

Katikkiro ng'abuuza ku Nsigo omugazzi wa Kabaka

Katikkiro ng'abuuza ku Nsigo omugazzi wa Kabaka

Enkya ya leero Katikkiro Mayiga akedde Kasubi mu masiro gano ng’ayaniriziddwa Minisita w’Obuwangwa, ennono n’Obulambuzi, Dr. Anthony Wamala, Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda, Patrick Mugumbule, Kamisona w’ebifo ebyedda ne myuziyamu mu minisitule y’obulambuzi mu gavumenti eyawakati, Jackline Besigye n’abalala.

Mayiga alambuziddwa ebifo eby’enjawulo mu masiro gano okuli munda w’enju Muzibu-Azaala-Mpanga era wano w’asinzidde okutegeeza ng’omulimu guno ogwatemebwa evvunike mu 2014 nga bweguwedde.

Katikkiro ng'abuuza ku Jacklyn Besigye akulira ekitongole kya Meseum n'ebibumbe

Katikkiro ng'abuuza ku Jacklyn Besigye akulira ekitongole kya Meseum n'ebibumbe

Alambuziddwa ekifo kya kamera, paakingi, enju eziddabiriziddwa, kabuyonjo n’ebirala era neyeebaza olukiiko olw'akwasibwa obuvunanyizibwa olukulemberwa Hajj Kaddu Kiberu olw’omulimu guno era yonna abadde akulembeddwamu, Katikkiro w’amasiro gano David Nkalubo.

“ Tuzze wano olwaleero okulangirira ng’omulimu gw’okuzzaawo n’okuddabiriza amasiro g’e Kasubi nga bweguwedde. Gusigaddeko omukolo gumu gwokka ogw’ennono nga kwe kusala ekisasi,” Mayiga bwagambye.

Camera eziteekeddwaawo okuketta abayinza okuleeta obulabe ku masiro

Camera eziteekeddwaawo okuketta abayinza okuleeta obulabe ku masiro

Katikkiro Mayiga ategeezezza ng’omulimu guno bwegumazzeewo obuwumbi bwa Uganda 13 bwatyo neyeebaza gavumenti eyawakati etadde obuwumbi buna n’obukadde 300 ku mulimu guno, ng’endala ziwereddwayo Obwakabaka bwa Buganda wamu ne Bannamukago abalala.

Katikkiro ne team ye nga bali ku masiro Kasubi

Katikkiro ne team ye nga bali ku masiro Kasubi

 Dr Wamala agambye  nti ebintu bingi ebikoleddwa ku masiro gano okuggazzawo mu mbeera nga gyegaalimu nga Ssekabaka Muteesa I weyagazimbira mu 1882 era neyeebaza Baminisita abaamukulembera olw’omulimu gwebaakola era neyeeyama okulabirira ekifo kino mu ngeri ey’omutindo ogwa waggulu.

Jackline Besiggye ku lwa gavumenmti eyawakati yeyamye okusigala nga bakwatiza ku Bwakabaka okulabirira ekifo kino n’agamba nti kuno bagenda kugattako amasiro g’e Wamala nago gebaagala gabeere ku mutindo.

Wano nga balaga engeri gyebasobola okuzikizaamu omuliro nga gukutte amasiro

Wano nga balaga engeri gyebasobola okuzikizaamu omuliro nga gukutte amasiro

Kasubi yafuuka amasiro mu 1884 oluvanyuma lwa Ssekabaka Muteesa I okukisa omukono era mu kiseera kino gaterekeddwamu Bassekabaka abalala  okuli Ssekabaka Mwanga II,Daud Chwa II ne Ssekabaka Muteesa II.

Amasiro gano gaateekeddwa ku lukalala lw’ekitongole kya UNESCO olw’ebifo eby’enkizo mu nsi yonna mu 2001 kyokka mu 201o gaggyibwako wabula mu 2023, gazzibwa ku lukalala luno oluvanyuma lw’ekitongole ky’ensi yonna kino, okumatira nti kyakuddawo nga bwekyaali.

Tags: