Amawulire

Omwana eyabbibwa mu ddwaliro e Mityana azuuliddwa

Omwana eyali owennaku ebbiri Amber Nabisere, eyabbibwa okuva ku nnyina mu ddwaaliro e Mityana, bumuzudde okuva e Myanzi gye babadde bamukuumira. 

Omukyala ng'asitudde omwana eyali yabbibwa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Omwana eyali ow'ennaku ebbiri Amber Nabisere, eyabbibwa okuva ku nnyina mu ddwaaliro e Mityana, bumuzudde okuva e Myanzi gye babadde bamukuumira. 

Poliisi ekutte omuwala  Madrine Nakayenga 20 , agambibwa okuba mu lukwe lw'okubba omwana ono.

Yabbibwa nga Nov 11 okuva ku nnyina Edith Ndiyomufaasa owokyalo Serunyonyi mu Ggombolola y'e Kalangaalo e Mityana, bwe baabali babasiibudde. 

Okuva olwo, poliisi ebadde amuyigga wamu n'omwana omulala Blessing Nassuuna 3 , naye eyabbibwa okuva ku nnyina, Sarah Nantume ow'e Kitinkokola mu Ttamu e Mityana, nnyina bwe yali agenze okuyigga enseenene. 

Omwogezi wa poliisi mu Wamalapoliisi, Kigozi, agambye nti omwana bamuddizza bazadde be nga bwe bakyayigga, omwana omulala.

Tags: