Amawulire

‘Omwaka 2024 gube gwa kwezza buggya’

PULEZIDENTI w’ekibiina ky’abaami abafumbo ekya Father’s Union mu bulabirizi bw’e Namirembe asabye Bannayuganda okwezza obuggya omwaka guno.

‘Omwaka 2024 gube gwa kwezza buggya’
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

PULEZIDENTI w’ekibiina ky’abaami abafumbo ekya Father’s Union mu bulabirizi bw’e Namirembe asabye Bannayuganda okwezza obuggya omwaka guno.

Wilber Naigambi yagambye nti buli muntu naddala abafumbo mu maka beeyambise  okusoomooza okubadde mu mwaka oguwedde okuteekawo enjawulo mu mwaka guno.

Yagambye nti amaka mangi gayise mu kusoomooza kw’obutabanguko ng’obusinga buva ku bwavu n’asaba buli muntu akole nga bw’asobola okweggya mu mbeera eno

Tags: