Bino byatuddwa atwala ebyenvuba mu disitulikiti y'e Kalangala, Adrian Kavuma mu lukiiko lw'abavubi olutudde ku kitebe ky'eggombolola ye Mugoye okusala entotto ku ngeri abavubi gye bayinza okulongoosaamu omulimu gwabwe.
Adrian agamba nti okunoonyereza okwakolebwa aba National Fisheries Research Institute (NaFIRI) kulaga nti ebyennyanja ku ludda lwe Uganda naddala empuuta yasalika okutuuka ku bitundu 38 ku 100, mu ggwanga ly'e Tanzania guli ku bitundu 52 ku 100 ate mu Kenya guli ku bitundu 42 ku 100.
Kino Adrian agamba nti kivudde ku kufa kw'ebyennyanja okwaliwo ku ntandikwa y'omwaka 2021 okwatta empuuta ezaali zirina okuzaala kumpi kuzimala mu nnyanja.
Mu birala ebinokoddwaayo kuliko okukozesa envuba emenya amateeka saako n'omuwendo gw'abavubi ogususse ku nnyanja Nalubaale.
"Wadde eby'ennyanja ebikulu bikendedde mu nnyanja naye ebito byo binji nnyo era biweza obunji kumpi bwa bitundu 70%," Kavuma bwe yayongeddeko.
Juliet Najuma Omubaka Wa Pulezidenti Nga Alabula Abavubi Ku Nguzi. Ekif. Samuel Nkuba
N'agamba nti ekisinga okwennyamiza y'envuba embi ekyalemedde ku nnyanja era eno enokoddwaayo nga eyinza okutta eby'ennyanja bino ebito olwo abavubi ne beeyongera okukifuuwa nga bakizza mu nda okumala akabanga akawerako.
Eric Serian aduumira amagye agalwanyisa envuba embi yeegaanye okuggya ku bavubi engunzi n'ategeeza nti abavubi babimujwetekako olwo bafune eky'okwekwasa mu bavubi bannaabwe.
"Abakwatibwa bonna basimbibwa mu mbuga z'amateeka era ne bavunaanibwa etteeka ly'ebyobuvubi erya 2003 mu nnyingo 197 mu kawaayiro nnamba 27," Serian bwe yategeezezza.
Mu lukiiko luno, omubaka wa Pulezidenti e Kalangala Juliet Najuma Ssenkoole asabye abavubi okwenyigira butereevu mu lutalo lw'okutaasa ennyanja naddala mu kulonkooma abo abalina ebivubisibwa ebimenya amateeka.