Omuwendo gw'abanoonyi b'obubudamu abafuna embuto nga tebannetuuka guwuninkiriza ababaka

OKUFUNA embuto mu bawala abatanneetuuka abali mu nkambi z'ababundabunda mu bitundu bya Acholi mu disitulikiti y’e Lamwo kweyongedde. 

Omuwala ng'asitudde bbebi ali mu layini alinze ssente
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision

OKUFUNA embuto mu bawala abatanneetuuka abali mu nkambi z'ababundabunda mu bitundu bya Acholi mu disitulikiti y’e Lamwo kweyongedde.

Bano bagamba nti ebimu kubivako embeera eno kwekuba nti bafiirwa abantu baabwe bangi mu mawanga gye bava nga balina okuzaala nga bukyali baddemu okufuna famire.

Mu nkambi y’ababuundabuunda eyitibwa Palabek Settlement Camp mulimu abanoonyi b'obubudamu  601 nga ebitundu  82% bakyala na baana.

Abamu ku bawala abazze okufuna ku ssente za UNICEF

Abamu ku bawala abazze okufuna ku ssente za UNICEF

Munteekateeka ekitongole kya UNICEF gye kirina okutuusa obuyambi ku bantu ekika kino, bano bawadde famire 2537 ezirina Abaana era nga buli maka gaweebwa 45,000# buli mwana buli luvanyuma lwa myezi mukaaga wabula nga ebitundu 70 ku nsimbi ezigabwa ziweebwa abatuuze abalinaanye enkambi eno.

Okusinziira ku Fivi Akullu awandiisa ababuundabuuda ow’ekitongole ki UNICEF, agamba nti abawala abato bafuna embuuto olw’ensonga babeera n’ennyiike ku mitima olw’abantu baabwe abatibwa nga babeera bagala bazaale bakole famire endala.

Agasseeko nti ku bawala 5 bosanga abatannetuuka, 3 babeera mbuto.

Abamu ku bantu abazze okusaba obubudamu ku kitebe kya Palabek settlemt

Abamu ku bantu abazze okusaba obubudamu ku kitebe kya Palabek settlemt

Mukawefube ababaka ba palamenti okuva mu kibiina ekirwanirira embeera z’abantu gwe babaddeko mu bitundu bya Acholi okulondoola enteekateeka za UNICEF mu kuyambako gavumenti mu bantu bano, baategeezeddwa nti ensimbi eziweebwa abantu bano zibayamba kutandiikawo bu buzinensi wamu n’okufuna byebalima.