Kitalo! Abatuuze basse abavubuka 5 ababadde basiba abadigize ebicupuli mu kivvulu e Mukono!

Bino, bibadde ku kyalo Namanoga mu ggombolola y'e Seeta Namuganga mu disitulikiti y'e Mukono, abatuuze bwe bakubye abavubuka ababadde bagenze mu bbaala ya Lion's bar mu kaliyoki ne battako bataano.

Kitalo! Abatuuze basse abavubuka 5 ababadde basiba abadigize ebicupuli mu kivvulu e Mukono!
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Kitalo #Mukono! #Bicupuli

Abantu bataano battiddwa n'abalala ne balumizibwa mu kulwanagana okubadde mu kivvulu e Mukono.

Bino, bibadde ku kyalo Namanoga mu ggombolola y'e Seeta Namuganga mu disitulikiti y'e Mukono, abatuuze bwe bakubye abavubuka ababadde bagenze mu bbaala ya Lion's bar mu kaliyoki ne battako bataano.

Patrick Onyango ng'annyonnyola

Patrick Onyango ng'annyonnyola

Kigambibwa nti abavubuka bano bavudde Kampala era nga babadde batambulira mu ttakisi nti bwe batuuse mu kitundu ne bagezaako okusiba abasuubuzi ebicupuli eby'emitwalo etaano, n'okubasala ensawo, ekiggye abatuuze n'abadigize mu mbeera ne babakakkanako ne babakuba ne battako bataano, abalala ne badduka.

Kigambibwa nti abamu badduse nti abatuuze ne balumba n'emmotoka ya takisi mwe bajjidde nnamba UBD 326X nayo ne bagikumako omuliro n'ebengeya.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, agambye nti emirambo gitwaliddwa. Mu ggwanika ly'eddwaaliro e Kayunga ng'okuyigga abatwalidde amateeka mu ngalo, kugenda mu maaso.