Omuwala eyasuula bbebi mu ttooyi wiiki ewedde nga afunye omusajja omulala ayimbuddwa

Apr 27, 2024

Omuwala Milly Mutonyi eyasuula bbebi mu ttooyi asanyuse bba omupya ayogedde engeri ewuniikiriza gyeyakolamu ekikolwa kino eky’obukambwe era naye n’ayagala okwetta ne bimulema.

Kafeero ng'ayogera ne nnyina wa Mutonyi mu ddwaliro Kayunga

Saul Wokulira
Journalist @Bukedde
Omuwala Milly Mutonyi eyasuula bbebi mu ttooyi asanyuse bba omupya ayogedde engeri ewuniikiriza gyeyakolamu ekikolwa kino eky’obukambwe era naye n’ayagala okwetta ne bimulema.

          Nyina wa Mutonyi atulise n’akaaba olw’ebigambo muwala we by’abadde annyonyola gw’atawulirangako nti alina olubuto.

          Mutonyi agambye nti wadde nga kati ayagala nnyo bbebi we,  yewunya engeri bbebi gweyazinga mu ngoye n’amusiba ekiwero ku nyindo n’amusuula mu kaabuyonjo ku ssaawa 5:00 ez’ekiro ate bwe baamunyulula nga mulamu ku ssaawa 5:00 ez’okumakya.

Mutonyiesuula baby mu ttooyi

Mutonyiesuula baby mu ttooyi

          W’owulirira bino nga Mutonyi poliisi y’e Kayunga emuyimbudde n’akwasibwa ab’ekitongole kya Noah’s Ark ekikulirwa Piet Buitendijk n’amutwala ne bbebi we abalabirire ekirese abantu nga beewunya olw’omuntu eyazzizza ogwa naggomola engeri gy’alya obutaala.

          Mutonyi agambye nti oluvanyuma lw’okukola ekikolwa kino yasooka kukwata kasipi ak’ekiteteeyi agende yetuge era nga alina n’akambe nti ssinga akasipi kalemererwa okujjawo yali wakwefumita akambe wabula yali afulumye mu nju ku ssaawa 7:00 ez’ekiro wabula bba Alex Ssenyonjo n’amusanga.

Yalowooza ku ky’okwewa obutwa era yali agenda okubugula ne wabaawo kitegeera n’ategeezaako landi loogi wabwe.

 Mutonyi anyumirizza ab’abamateeka engeri gyeyazaala bbebi nga ne bba gw’asula naye mu buliri tamanyi nti alina olubuto olutuuse okuzaala era nti bba yali agenze kulaba omupiira mu budde obw’ekiro.

Mutonyi agamba nti ekirala ekyamusuuzisa omwana mu ttooyi yatya bazadde be kubanga omusajja Budala Muyinda eyamuwa olubuto bazadde be tebamwagala olw’ekuzaalanga mu bawala b’oku kyalo n’abalemesa okusoma ate n’atalabirira baana.

Omuzungu Piet Buitendijk agambye nti okusiba omuwala ono n’okumunenya olw’ekibi ssi y’ensonga enkulu wabula bagenda kumubuulirira bamwagazise omwana we n’agamba nti kino kijja kusoboka kubanga okuva lweyatandise okumuyonsa enkwatagana eya maama ne bbebi etandise okulabika.

Mutonyi eyasuula baby

Mutonyi eyasuula baby

Collins Kafeero ow’amaka, abaana n’eddebe ly’obuntu agambye nti omusango oguvunaanibwa Mutonyi teguvuddewo wabula asooke alabirire ebbujje addemu awerennembe n’omusango era ne bwe gunaamusinga bajja kusaba omulamuzi akole ekibonerezo nga aviira wabweru.

Nannimbe Margaret maama yebazizza Katonda olw’omwana we okuyimbulwa ate nga omusango gweyazzizza munene era n’asaba nti Katonda amulung’amye amujjemu omutimba ogwo ogw’obutemu.

          Poliisi nga eyita mu muduumizi wayo e Kayunga SP. Rosette Sikahwa alung’amizza ku kyagonzezza poliisi n’eyimbula omuntu eyakoze ekivve ekyesisiwaza buli muntu.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});