Bassentebe b'ebyalo bakukkulumye obutabateeka mu nteekateeka z'okubala abantu

May 10, 2024

ENTEKATEEKA z'okubalala abantu zitandise okwetolola eggwanga wakati mu mukukerewa n'o kwemulugunya okuva mu ba Ssentebe b'ebyayo abagamba nti balekeddwa bbali.

okubala abantu mu Lubaga

Eria Luyimbazi
Journalist @Bukedde
ENTEKATEEKA z'okubalala abantu zitandise okwetolola eggwanga wakati mu mukukerewa n'o kwemulugunya okuva mu ba Ssentebe b'ebyayo abagamba nti balekeddwa bbali.
 
Mu muluka gwa Lubya mu Munisipaali ya Lubaga abaasunsulwamu okubalala abantu bakunanganidde ku ssomero lya KCCA erya  Namungoona Kigobe Primary School okusooka okubalaga engeri gyebagenda okukozesaamu ebyuuma mwebagenda okuyingiza bwiino gwebagye mu bantu bebabaze nga kino kyatutte akaseera okuva ku saawa 1:00 ey'okumakya okutuusa saawa 3:30 ez'okumakya.
Okubala abantu mu Lubaga

Okubala abantu mu Lubaga

 
Mercy Maria Nagawa omu kubasindikiddwa okubala abantu yagambye nti basoose kubatendeka okukozesa ebyuma mwebagenda okuyingiza bwiino gwe bakunganyizi mu bantu bebabaze nga ekyazeeko kwekukungana baabwe namba ezinagulawo batuuke ku bibuuzo byebanabuuza abantu.
 
Wabula nga entekateeka eno etandise ba Ssentebe b'ebyaalo balaze okwelugunya olw'obutayingizibwa mu ntekateeka z'okubalala abantu basobole okunyonyola abatuuze babwe mu byalo byabwe.
 
 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});