Okubala abantu kutandise kikeerezi e Kayunga

May 10, 2024

E Kayunga okubala abantu 2024 kubaddemu okusomoozebwa ku lunaku olusooka era weziweredde ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omuttuntu nga okubala tekunnaba kutandika.

Okubala abantu e Kayunga

Saul Wokulira
Journalist @Bukedde

E Kayunga okubala abantu 2024 kubaddemu okusomoozebwa ku lunaku olusooka era weziweredde ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omuttuntu nga okubala tekunnaba kutandika.

Ate abamu bafunye ekizibu kya network nga bitundu ebimu ebyuma tebisika.

Ba ofiisa ababala abaabadde bakedde mu byalo okukola omulimu ogwabakwasiddwa baasobeddwa olw’ebyuma ebikozesebwa okwecanga era banna bavuddeyo ne badda bakung’anira ku bitebe by’amaggombolola nga basobeddwa.

  Abamu ku bano oluvanyuma lw’okukandaalirira nga tebatandika mulimu nga ne bakama baabwe nabo babadde tebalina ansa (answer) ku nsonga y’ebyuma ebitakola.

Betwogeddeko nabo okuli Pius Mugaya eyasindikiddwa okukola mu Kibira zone, n’abalala bagambye nti obuuma bwe bateekamu layini z’essimu zaabwe bukola bulungi wabula obuzibu obuliwo nti ssente eziteekako Data awera tebazirina nga n’ensako eyabasuubizibwa mu bbanga ery’ennaku omwenda (9) zebamaze mu kutendekebwa tebawebwanga.

Bagambye nti ennaku 10 zebaateekawo okubaliramu abantu ziyinza obutabamala kubanga olusooka balufiiriddwa ate abamu we bwakeeredde baabadde tebamanyi byalo gyebagenda kukolera.

Baabadde bakyali mu kwecwacwana Kamisona eyakulidde okubala mu disitulikiti y’e Kayunga Flavia Ouma n’atuuka n’abagumya nti okusomoozebwa kubaddewo mu lunaku luno olusooka wabula bagenda kusala amagezi okulaba nga byonna bitereera.

Ouma agambye nti obuuma bubadde tebunnateekebwamu maapu z’ebyalo wabula bagenda kusala amagenzi okulaba nga baziyingizaamu.

Oluvanyuma abaakwasiddwa obwannampala (supervisors) baalagidde ababala baddeyo mu byalo era ku ssaawa nga 9:00 (3PM) ez’olweggulo batandise okubala abantu.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});