Ab'e South Sudan bazzeemu enteeseganya okuteekawo emirembe mu nsi yaabwe

May 10, 2024

ABAKULEMBEZE b'e South Sudan abalwanagana bazzeemu okutuula okumalawo obutakkaanya n'okutebenkeza eggwanga. Entuula zino ziyindira Kenya nga zaatongozeddwa ku Lwokuna, Bapulezidenti b'amawanga ga Africa ne babasaba okusalawo bakomye entalo ezizing'amizza enkulaakulana y'ensi eyo okumala emyaka.

Pulezidenti wa Kenya William Ruto ng'aggulawo enteeseganya

Williams Ssemanda
Journalist @Bukedde
ABAKULEMBEZE b'e South Sudan abalwanagana bazzeemu okutuula okumalawo obutakkaanya n'okutebenkeza eggwanga. Entuula zino ziyindira Kenya nga zaatongozeddwa ku Lwokuna, Bapulezidenti b'amawanga ga Africa ne babasaba okusalawo bakomye entalo ezizing'amizza enkulaakulana y'ensi eyo okumala emyaka.

Pulezidenti wa South Sudan, Salva Kiir ataalutumiddwa mwana yeebazizza owa Kenya, Dr William Ruto, olw'okubakyaza n'agamba nti kino kya kubawa omwagaanya okuteesa awatali kwekengeregana.

Enteeseganya zino ziri wakati wa Gavumenti n'ebibinja by'abayeekera ebitaali mu ndagaano ya 2018 eyakomya olutalo olw'emyaka etaano olwali lutirimbudde abantu abasukka mu 400,000.

Okuteesa kuno Ruto kwe yagguddewo kwetabiddwaako Bapulezidenti abalala omuli owa Malawi - Lazarus Chakwera, owa Zambia - Hakainde Hichilema, owa Namibia - Nangolo Mbumba n'owa Central African Republic - Faustin-Archange Touadera.
South Sudan ebadde tetereeranga okuva lwe yafuna obwetwaze nga July 9, 2011 nga newankubadde waaliwo enteeseganya n'okukola endagaano ezireetawo emirembe mu 2018, bingi ebiri mu ndagaano tebinnassibwa mu nkola era okulwana kukyaliwo.
Newankubadde eggwanga lino lisuubirwa okukuba akalulu mu December wabula ensonga enkulu omuli n'okulemererwa okugatta ebitongole bya bamukwatammundu okukola eggye ery'awamu tebinnakolebwako

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});