Kenya ekungubagidde abantu 238 abafiiridde mu mataba

May 10, 2024

PULEZIDENTI wa Kenya William Ruto akuliddemu olunaku lwe yalangiridde okukungubangira abo bonna abaafiiridde mu mataba agaalese Bannakenya bangi nga bafumbya miyagi.

Bannakenya nga bakungubagira bannaabwe abaafiira mu mataba

Williams Ssemanda
Journalist @Bukedde

PULEZIDENTI wa Kenya William Ruto akuliddemu olunaku lwe yalangiridde okukungubangira abo bonna abaafiiridde mu mataba agaalese Bannakenya bangi nga bafumbya miyagi.

Bwe yabadde alangirira olunaku lwa leero Olwokutaano ng’olwokuwummula mu ggwanga lyonna, Ruto yagambye nti ba kulutandika nga basimba emiti okwetooloola eggwanga kiyambeko okulwanyisa emnkyukakyuka y’embeera y’obudde.

Bannakenya nga bakungubagira bannaabwe abaafiridde mu mataba

Bannakenya nga bakungubagira bannaabwe abaafiridde mu mataba

Kino kiddiridde Kenya,n’amawanga ga East Africa, okulumbibwa enkuba ey’amaanyi abantu abasoba mu 235,000 ne baba nga tebakyalina mayumba mwe basula.

Ruto yalagidde n’amasomero okuddamu okuggulwawo oluvannyuma lwa wiiki bbiri nga masibe olw’enkuba ey’amaanyi n’amataba ebibadde byeriisa enkuuli mu Kenya era amasomero agasoba mu 1,000 ebizimbe byago byakoseddwa nga bali mu kubiddaabiriza

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment

More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});