Poliisi e Nsangi ekutte omuwala ow'emyaka 18 agambibwa okufumita mukozi munne ekiso n'amutta nga balwanira sigiri.
Swabura Arinda 18, y'akwatiddwa ku bigambibwa nti asse Grace Anyima 18, nga bombi babadde bakozi ku Dema Bakery mu Rabai Estate e Kyengera mu Wakiso.
Kigambibwa nti Swabura agezezzaako okuggyako eseffuliya ya Grace ku sigiri asobole okufumbirako amazzi era mu kanyoolagano ako, kigambibwa nti Swabura abase akaso n'akafumita Grace mu mugongo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango agambye nti bagezezzaako okumutwala mu ddwaaliro n'afa olw'ebiwundu.
Ayongeddeko nti basobodde okuzuula akambe akakozeseddwa ng'okubuuliriza bwe kukolebwa.