Abantu 35 abagambibwa okwenyigira mu bubbi bwa bodaboda n'okutunda sipeeya omubbe, bakwatiddwa poliisi mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi e Katwe mu Kampala.
Mu kikwekweto kino ekikoleddwa mu zzooni ya Wansaanso e Kibuye mu Kampala, kiyoleddemu ppikippiki 9 ezigambibwa okuba enzibe.
Ezimu kuliko ennamba UFL 083U, UFW 693H, UET 495A, UFU 306W, UDS 592K, UFA 841M, UEL 401N, UFC 050L n'endala okutali nnamba.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire agambye nti, omuyiggo gukyagenda mu maaso.
Kino kiddiridde obubbi bwa pikipiki okweyongera omuli n'okutemula abamu ku bazivuga kwe kusalako ggalagi mwe bazikanikira.