Amawulire

Dr Tang Odoi ne Hadijah Namyalo balambuludde engeri gyebagenda okukuumamu akalulu ka Mzee

AKULIRA akakiiko akagenda okulondoolola n'okukuuma akalulu ka Pulezidenti Museveni,  Hajjat Hadijah Namyalo ng'ali wamu n'akulira akakiiko k'ekibiina kya NRM ak'ebyokulonda Dr. Tanga Odoi balabudde ababaka ba Palamenti abakwatidde ekibiina kya NRM bendera obutagezaako kutataganya bakuuma kalulu ka ssentebe waabwe.  

Dr Tang Odoi ne Hadijah Namyalo nga boogera
By: Joseph Mutebi, Journalists @New Vision
AKULIRA akakiiko akagenda okulondoolola n'okukuuma akalulu ka Pulezidenti Museveni,  Hajjat Hadijah Namyalo ng'ali wamu n'akulira akakiiko k'ekibiina kya NRM ak'ebyokulonda Dr. Tanga Odoi balabudde ababaka ba Palamenti abakwatidde ekibiina kya NRM bendera obutagezaako kutataganya bakuuma kalulu ka ssentebe waabwe.
 
''Njagala okuteegeza ababaka baffe abakwatidde NRM bendera ku mutendera gw'obubaka bwa Palamenti nti tubaagala nnyo naye abantu baffe bano abalondeddwa okukuuma akalulu ka Pulezidenti  okwetoloola eggwanga si bamwe balina kukuuma kalulu ka mukama waffe kokka era namwe muweebwa amagezi okunoonya abamwe nga ssemateeka wa Uganda bwabawa eddembe lyamwe'' Namyalo bweyategeezza.
 
    Namyalo ne Dr Tanga Odoi bagambye nti okuvaayo kiddiridde abamu ku babaka ba Palamenti okutandika okutataganya abantu baffe nga mubaletamu eby'obufuzi ebyenjawukana ne bemuvuganya nabo nga buli yesimbyewo eyawangula kaadi natawangula nga buli omu ayagala akuumire ye.
 
    Bano basobola okukwatagaana n'abamwe naye tekibakakkatako kukuuma kalulu kamwe  era ye nsonga lwaki wano mu lukiiko watuddewo nze akulira offiisi ya ssentebe wa NRM  mu ggwanga Namyalo ne Dr. Tanga Odoi akulira akakiiko k'ebyokulonda mu NRM
 
    Namyalo yagambye nti abantu bano ababbiri abalondeddwa ekibiina kya NRM abagenda okukuuma akalulu ka Museveni ku buli mutendera okuviira ddala ku disitulikiti bagenda kukuuma kalulu ka Museveni kokka era kuliiko gwe bayita '[NRM district Regestra ne  ONC district coordinator ng'ono y'agenda okukola nga kalondoozi wa kalulu kano okuva ku mutendera gwa disitulikiti okutuuka wansi
      Yagambye nti bw'ova ku mutendera gwa disitulikiti tulina abantu be bamu ku mutendera gw'e ggombolola, ku muluka okutuukira ddala ku byalo era abakulira emitendera gino be bagenda okutukirwako ssente zebanaawa abantu be batwala nga ssente zino zigenda kutuukira ku akawunti y'ekibiina kya NRM ku disitulikiti era ssentebe bwazifuna olina okuziggyayo era oziiwe banannyini zzo nga ttolina wadde ekikuumi kyogyeko
     Yayongeddeko nti buli aweereddwa omukisa okukuuma akalulu Museveni olina okubeera n'e mpiisa era nga ogobereera amateeka ga kakiiko k'ebyokuloda kyokka ng'olina eriiso ejjoogi abalabe baffe baleme kutuyita mabega kutukola ebyakolebwa mu kalulu ka 2021 naddala wano mu Buganda.
     ''Nsaba mukeere ku bifo we mugenda okulondera mutukewo ssaawa 12:00 ku makya okakuume okutuusa nga buli kimu kiwedde nga n'empapula zonna zitekeddwako emikono. Omuntu waffe yenna akuuma akalulu nsaba bw'olaba ebitagenda bulungi nsaba oyite mu mateeka okutuusa okwemulugunya kwamwe eri bekikwatako ne bakama bo mu kifo ky'okuviirako okutta akalulu kaffe'' Namyalo bweyategezezza.
     Yayongeddeko nti aba ONC liisiti yonna enabeera ekuweereddwa togezaako kugiwakanya kubanga ekibiina gwekinabeera kisazeewo okukuuma akalulu yooyo kolagaana naye. Mu ngeri y'emu yasabye oyo yenna avunaanyizibwa okuwa abagenda okukuuma ssente zabwe ez'entambula n'okulya muzibaawe mu budde kubanga balina okutambula n'okulya.
    ''Nsaba ba ssentebe ba disitulikiti okumanya nti mulina okubeerawo mu budde era abaana baffe abagenda okukuuma akalulu mu baawe ssente zabwe mu budde nga temuggyeko wadde ekikuumi oba okuteekawo akakwakulizo konna'' Namyalo bweyategezezza.
     Yatangazizza nti wadde balina abantu babbiri abagenda okukuuma obululu ku buli kifo awalonderwa naye  n'omuntu ow'okusattu ku buli kifo ng'agenda kubeera ng'ali bbaali ng'abantu abalala okuggyako agya kuvaayo nga wabaawo alwadde baggya kubeera basobola okumuzaawo mu kifo kye mu bwangu kubanga naye aggya kubeera muwandiise mu mateeka.
     Dr. Tanga Odoi, yagambye nti ebifo ebirondebwamu bitwalibwa ku buli muluka nga mu Uganda mwonna mulimu ebifo ebirondebwamu 38,000, nga kitegezza ntibw'okubisamu abantu baffe ababbiri ku bifo byonna tubeera tulina abantu 76,000. okwetoloola eggwanga lyonna abagenda okukuuma akalulu ka Museveni okulaba nga tewali addamu kazannyirako.
    Tanga naye yalabudde ababaka ba Palamenti abalowooza nti abantu bano abalondeddwa okukuumira Museveni akalulu nabo balina okukabakuumira basaaga nabo yabasabye balonde abaabwe.
    Bo ba ssentebe ba NRM ku  disitulikiti abagenda okutukirwako ssente z'abagenda okukuuma akalulu ka Museveni ku akawunti z'ekibiina yabasabye nti bazigyayo bazikwasse omuwanika ligestula wa NRM ne koodineta wa ONC nga bayisse olukiiko waabeerewo obujjulizi nti ssente zino bazibawadde zonna  ate  mu budde era bateekeko omukono.
     Yabasabye baleme kubeerako abatiisatiisa mu bifo we balondera naddala abo abagamba nti balina eggaali. Mwe mugobereere amateeka kyokka mulina okubeera abavvumu okukuuma obuwanguzi mwa Museveni kubanga yawangudde dda okusinziira Ku kunoonyereza kulaaga nti alebya banne n'ebitundu 80 ku 100. Ends .
 
    
Tags: